Omulangira Charles y'afuuse Kabaka wa Bungereza

OMULANGIRA omukulu owa, kati omugenzi Kkwiini erizabeth II, Prince Charles afuukiddewo Kabaka wa Bungereza oluvannyuma lwa nnyina okufa.

Omulangira Charles y'afuuse Kabaka wa Bungereza
By Williams Ssemanda
Journalists @New Vision
#Amawulire

London, United Kingdom

Charles , 73, okusinziira ku nnono mu Bwakabaka buno afuukiddewo Kabaka omuggya newankubadde nga tannatuuzibwa kubanga bo Nnamulondo yaabwe tesobola kuba njereere ky'avudde asikira nnyina amaze mu ntebe eyo emyaka 70.

Kkwiini Elizabeth II, afudde mu kawungeezi ka leero ku Lwokuna nga September 8, 2022 ku myaka 96 nga ye Kkwiini akyasinze okulwa mu ntebe eno ng'afiiridde mu lubiri lwe olw'e Buckingham e Scotland.