OMULAMUZI Alice Komuhangi owa kkooti enkulu ewozesa emisango gy’omutendera gw’ensi yonna e Wandegeya awadde nsalessale eri bannamateeka b’abagambibwa okutta eyali omwogezi wa Poliisi, Andrew Felix Kaweesi ku kuwaayo endowooza ku musango.
Kiddiridde omusango guno okuddamu ku mutendera gw’okuguteekateeka kyokka abamu ku bannamateeka b’abantu bano okuli David Kasadha ne Ladslus Rwakafuuzi okubeera nga tebannateekamu ndowooza zaabwe oba emisango gy’okutta Kaweesi gikakasibwa.
Emisango gino givunaanibwa Bruhan Balyejjusa, Yusuf Siraje Nyanzi, Abdul Rashid Mbaziira, Aramanzan Noorden Higenyi, Yusuf Mugerwa ne Joshua Kyambadde era nga babadde bakomyewo mu kkooti okufuna ensala yaayo oba emisango gino gikakasibwa kyokka tekyasobose.
Omulamuzi yabalagidde okussaamu endowooza zaabwe obutasukka nga March 11, 2024 ate oludda oluwaabi luteekemu okuddamu kwalwo nga March
18, 2024 olwo ye awe ensala ye nga April 15, 2024.