OMULAMUZI wa kkooti e Lugazi agobye omusango gw’okuddamu okubala obululu ogwatwalibwayo omubaka Stephen Sserubula ng’agamba nti obululu bwe bwabalibwa bubi n’obulala okuttibwa.

Sserubala (Ku Ddyo) ng'annyonnyola
Omulamuzi Roseline Nsenga akulira abalamuzi ba kkooti ento e Lugazi asinzidde ku kitebe ky’akakiiko k’ebyokulonda e Buikwe gy’abadde agenze okutandika okubala obululu kyokka kimubuuseeko bw’atuseeyo n’asanga bbookisi z’obululu ezisukka mu 20 nga zaggyiddwako Ssiiru mu ngeri etali nnambulukufu.
Kkooti agituuzizza mu ofiisi z’akakiiko k’ebyokulonda nga omuwaabi Sserubula waali wamu ne bannamateeka be, Richard Ssenteza eyawangula akalulu k’omubaka wa munisipaali y’e Lugazi wamu ne bannamateeka be abaakulembeddwa Hassan Kamba ssaako bannamateeka okuva mu kakiiko k’ebyokulonda nako akaali kawawaabirwa mu musango guno.
Bw’abadde awa ensala ye agambye nti tayinza kugenda mu maaso na kuwulira nteekateeka zaakuddamu kubala bululu mu mbeera bbookisi gye zisangiddwamu ng’abantu bangi bazirabye abawaabi n’abawaawaabirwa ssaako abantu ba bulijjo

Kooti Yajjudde Abantu Ne bayimirira Mu Kaguli
Okusooka Sserubula yatwala omusango mu kkooti e Lugazi nga 23 -01- 2026 ng’awakanya ebyaabalibwa obululu obuwerera ddala 888 obwayonoonebwa nga abaabutta baali abo abaali bakulira ebyokulonda nga n’obusinga bwali bubwe nga buno bwe bwekebeggyebwa ne kizuulibwa nti bwali butuufu ne bumuweebwa aba muwanguzi.
Yayongerako n’engatta y’obululu obwamuweebwa , obwaweebwa Richard Ssenteza eyawangula ssaako obwayitibwa obufu nti engatta tekwatagana era abaagatta baakola ensobi.
Omusango guno gwawuliddwa omulamuzi Roseline Nsenga ku Lwokutaano mu kkooti eyabadde ejjudde n’ebooga.

Abawagizi Ba Sentezza Nga Bajaganya Nga Omulamuzi Yaakawa Ensala ye
Munnamateeka Kamba awolereza Sentezza yategeezezza kkooti nti tekyetaagisa kuddamu kubala bululu kuba n’omuwaabi yennyini mu kuwaaba yassaayo ebiwandiiko ebiraga nti yawangulwa n’obululu obusukka mu 400.
Omulamuzi bw’amaze okulambula sitoowa z’obululu w’akizuulidde nti nga bbookisi nnyingi zibadde zaggyiddwako ssiiru n’abuuza abakulira sitoowa nga nabo tebalina kye baddamu kituufu kwe kutegeeza nga bw’agobye eby’omusango gw’okubala obululu n’abasuubiza nti ensala ye yonna mu bujjuvu waakugissa ku mukutu gwa bannamateeka ogw’emisango mu ssaawa bbiri ezinaaba ziddako
Ssenteza asiimye ensala y’omulamuzi n’agamba nti kaawereza abantu ba Lugazi nabo beewuunye nti lwaki emirundi gy’azze yeesimbawo babadde tebamulonda.
Ye Sserubula agambye nti ekituufu kirabise nti waabaddewo obubbi bw’obululu nti waliwo abaakolaganye n’abakuuma bbookisi ne baggyako ssiiru ne bongeramu obululu, ebadde ensobi y’akakiiko k’ebyokulonda