POLIISI e Mityana, ekyagenda mu maaso n'okunoonyereza ku nfa y'omusajja agambibwa okuba waddanga ng'omulambo gwe, gusangiddwa mu nnimiro y'essomero.
Omulambo gw'omusajja ono Kanyankole 40, omutuuze w'e Bbuye e Kikumbi e Mityana, gwasangiddwa abantu abaabadde bayita mu nnimiro nga gugangalamye n'ekiwundu eky’amaanyi mu kyenyi..
Abamu ku booluganda lw'omugenzi, bagamba nti omuntu waabwe y'andiba nga yakubiddwa abantu abatannamanyika olw'ebyobufuzi.
Wabula omwogezi wa poliisi mu Wamala, Lameck agambye nti omugenzi y'andiba nga yanywedde omwenge n'atamiira n'akuba omutwe ku jinja n'afa ng'adda ewuwe. Agasseeko nti okubuuliriza kukyagenda mu Maaso.