Omulabirizi Ssebaggala ajunye ab'ekkanisa abaagobeddwa mu ddwaliro ly'e Kayunga
Apr 27, 2024
Omulabirizi w’e Mukono eyawummula Rt. Rev. James William Ssebaggala awaddeyo ettaka mu tawuni y’e Kayunga wakati kuzimbibweko ekkanisa.
Rev. Muwanguzi n'abamu ku Bakulisitaayo nga balambula ettaka eryabaweereddwa
Omulabirizi w’e Mukono eyawummula Rt. Rev. James William Ssebaggala awaddeyo ettaka mu tawuni y’e Kayunga wakati kuzimbibweko ekkanisa.
Omulabirizi Ssebaggala nga ali ne mwanyina Rachael Mukasa baawaddeyo ekifo kya fuuti 100 ku 100 mu zooni y’e Nakaliro okumpi n’eddwaliro lya Kayunga regional Referral.
Ebimu ku bizimbisibwa ebyayiriddwa ku ttaka eryabaweereddwa
Omwawule atwala Obusumbwa bw’e Namagabi Rev. Daniel Muwanguzi yalambudde ettaka lino neyebaza bonna abaabadde emabega w’enteekateeka eno.
Abakulisitaayo mu kkanisa ya St. Luke okuli Dr. David Kavulu, Yusuf Ssengooba ne Canan Musisi beebazizza omulabirizi ne bagamba nti ssente ez’okuzimba weziri era baatandikiddewo okuyiwa ezinaakozesebwa mu kuzimba.
Abakulisitaayo babadde basabira mu kiu ku bisenge by’omuddwaliro ly’e Kayunga era baalina essuubi okuzimba ekkanisa munda mu ddwaliro wabula ab’obuyinza abaakulemberwa CAO w’e Kayunga Abdu Batambuze ne babagaana okuzimba ku ttaka lya gavumenti.
Omusumba wa St. Stephen’s church Namagabi Rev. Daniel Muwanguzi yebazizza omulabirizi olw’okuwagira ekkanisa
No Comment