Mu kaweefube w’okweteekerateekera okujaguza olunaku lw’abajulizi ba Uganda olukuzibwa buli nga 3rd ogw’omukaaga, akakiiko akateesiteesi ak’ebikujjuko by’omwaka guno ku kiggwa ky’abakulisitaayo e Namugongo nga bakulembeddwamu omulabirizi wa Rwenzori, Reuben Bizarwenda Kisembo banjudde enteekateeka nga bwezigenda okutambula.Byonna bibadde ku kiggwa ky’abakulisitaayo e Namugongo.