Bya Joanita Nakatte
POLIISI y’e Mukono esanze akaseera akazibu okugumbulula abakozi abaabadde bataamye oluvannyuma lwa asikaali okukuba munnaabwe amasasi agaamuttiddewo.
Joseph Ochen abadde omukozi wa kkampuni ya Atlas esangibwa ku kyalo Ssenyi Ddegeya mu ggombolola y’e Goma e Mukono ye yattiddwa asikaali wa kkampuni ya Corporate Security abadde yaakaleetebwa ku mulimu.
Embeera eno yavuddeko abakozi n’abatuuze okwegugunga ne baagala okwokya kkampuni wabula poliisi n’ekkakkanya embeera.
Okusinziira ku bamu ku bakozi abakola mu kkampuni eno abaalabye ebigenda mu maaso, baategeezezza ng’omukuumi bwe yasoose okulumiriza omugenzi nga bw’abadde yabbye emisumaali esatu n’agikweka mu ngoye kyokka nti bwe yamwazizza n’atamusanga nagyo, n’atandika okumubuuza akana n’akataano wa gye yabadde agikwese era nga wano olutalo we lwatandikidde.
Rashid Muwanga omukozi mu kkampuni eno yategeezezza nga munnaabwe bwe yagezezzaako okwerwanako oluvannyuma omukuumi n’agalula emmundu n’akuba amasasi era abiri ne gamukwasa ne gamutta. Bannannyini kkampuni eno baagaanyi okubaako ne kye boogera ku nsonga eno