POLIISI eyigga omukazi agambibwa okufumita bba ebiso ebimusse, ng'amuteebereza okuganza omukazi omulala.
Ettemu libadde ku kyalo Sitira mu muluka gwa Soono mu ggombolola y'e Bukokho e Namisindwa , Shamim Nandutu gy'agambibwa okufumita bba Enock Makoona 28 ekiso ekimusse . Abadde musajja mulimi.
Kigambibwa nti Shamim yalondoodde bba eyabadde mu Sitira trading centre, n'amuwalaawala ng'amuzza awaka nga n'ekyaddiridde batuuze kusanga mulambo nga guliko ebiwundu eby'amaanyi .
Ssentebe wa LC1 mu kitundu ekyo, Samuel Sikuku, atemezza ku poliisi n'eggyawo omulambo okugwekebejja nga bwe bayigga Shamim ayambeko mu kunoonyereza.
Omwogezi wa poliisi e Mbale, Rogers Taitika, ategeezezza nti baludde nga balina obutakkaanya , ng'omukazi alumiriza bba , okufunayo omukazi omulala, gw'abadde agenda okuwasa nga kiyinza okuba nga kye kivuddeko ettemu.