OBUKWAKKULIZO omugagga Gordon Wanamunno bwe yataddewo ku kuziika mutabani we Joe Kayima eyagudde n’afiira mu kinaabiro, bulese abakungubazi boogera bwama.
Kayima, 57, yaziikiddwa e Nakwero ku Ssande nga kitaawe Omugagga Wavamunno 80 yagaanye omuntu yenna okumuwa amabugo wadde okutwala ebimuli mu kuziika era abakungubazi baakibagambiddewo ng’omubiri gwa Kayima gwakatuuka okuva mu Thailand gye yafiira.
Omugenzi Bw'abadde Afaanana.
Kabaka akungubagidde Kayima Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II akubagizza musajja we Polof. Wavamunno olw'okufiirwa mutabani we Kayima.
Kabaka yennyini, yakubidde Polof. Wavamuno essimu okumusaasira olw'okufiirwa kuno ku lw'Obwakabaka.
Bino omumyuka owookubiri owa Katikkiro era omuwanika wa Buganda, Robert Waggwa Nsibirwa ye yabitegeezezza abakungubazi eggulo, mu kuziika omugenzi e Nakwero mu ggombolola ya Ssabaddu Kira mu Kyadondo.
Waggwa yatuusizza n'Obubaka bwa Katikkiro wa Buganda, Charles Peter Mayiga ataasobodde kwetaba mu kuziika kyokka nga yakedde mu maka ga Polof. Wavamunno e Nakwero n'amukubagiza.
Mu bubaka bwe obwasomeddwa, Mayiga yeebazizza Polof. Wavamunno olw'okugunjula abaana era n'abatendeka mu mirimu egiganyudde ennyo eggwanga.