NNAGGAGGA Sudhir Ruparelia ayongedde okumegga banka ya DFCU mu kkooti e Bungereza. Mu nsala ya kkooti ey’Ebyobusuubuzi ey’e Bungereza eyitibwa ‘Business and Property Courts’, omulamuzi Stephen Hofmeyr KC yagaanye okukkiriza banka ya DFCU okuliyirirwa Sudhir Ruparelia eyali nnannyini bbanka ya Crane eyaggalwawo mu 2016. Ensala eno omulamuzi yagiwadde ku Lwokusatu nga October 30, 2024.
Mu musango guno, Sudhir gwe yawaaba ng’ayita mu Crane Bank Limited ne ffamire ye okuli mukazi we Jyotsna Ruparelia, abaana n’omu ku baali badayirekita ba banka eno Tom Mugenga ng’awakanya okusasula ya DFCU bank limited eyali yeddiza ebyobugagga bye, bwe yali eggaddwaawo nga bano yabagasseeko ne kkampuni ya Dfcu Limited, Jimmy Mugerwa, Juma Kisaame, William Sekabembe, Cdc Group Plc, Norfinance As, Rabo Partnerships Bv,Arise Bv, Stephen Caley, Michael Alan Turner, Albert Jonkergouw, Willem Cramer, Ola Rinnan ne Deepak Mali.
Mu musango guno DFCU ebadde eyagala Sudhir abaliyirire wabula Omulamuzi wa kkooti enkulu e Bungereza Stephen Hofmeyr Kc yagaanyi okukkiriziganya nabo n’agoba okusaba kuno. Omulamuzi Stephen Hofmey yasinzidde ku kwewozaako kwa Sudhir ne banne mwe baagambidde nti tebajja kusobola kusasula ssente zino era n’agamba nti ebyobugagga bye tebasobola kubifuna kuba abiriko n’abantu abalala nga bwe kityo kijja kubeera kizibu okuliwa ebintu nga DFCU bw’eyagala.
Agambye nti singa kkooti ye eragira DFCU okuliyirwa okuva mu baawaabira tasuubira nti Sudhir anaasobola okusasula ssente ezo nga DFCU bw’eyagala.
Ekya Sudhir okusasulira omusango guno ku lwa banne bwe bali ku musango guno nga bwe kitajja kusoboka kuba baagattibwako bugattibwa ku musango ng’ebyobugagga byabwe tebiriiyo ng’omugugu gwonna guli ku Sudhir nga tasobola kusasulira banne bwe bali ku musango.
Hofmey ayongedde n’agamba nti ssente zonna eziragiddwa mu musango guno zibadde zisasulwa nga teziraze buli muwawaabirwa zaasasulwa era kati baakasasula ssente ezisoba mu buwumbi 48 (doola 1,355,956) eri DFCU era ezimu ku zo baddamu n’okuzisasula. Bwe kityo singa alagira okusasula ssente endala kibeera kityoboola ekitiibwa kye ng’omulamuzi.
Yagambye nti aba DFCU baalemwa okulaga ebyobugagga bya Sudhir era mu 2019 Forbes yalaga Sudhir yalina ebyobugagga ebisukka mu kawumbi kamu aka doola nga mulimu ebyobugagga ebiri mu Uganda n’ebyo ebiri mu Bulaaya era tewali bujulizi bwe yaleeta bulaga nti ebyobugagga ebyo byeyongera okuva mu 2019 okuva omusango bwe gwatandika.
DFCU ne banne baalemeddwa okuleeta okusaba kwabwe nga basaba okuteekaayo omusingo gwabwe eri Sudhir bwekityo kkooti eno terina buyinza kuyisa ekiragiro nga DFCU bweyagala mu musango guno.
Bwatyo omulamuzi Hofmey ng’asinziira ku zimu ku nsonga ezo yasazeewo okugoba okusaba kwa DFCU mu musango guno gwe babbikana ne Sudhir ku nsonga z’okweddiza bbanka ye.