ABAKUNGU okuva mu kitongole ekivunaanyizibwa ku bya mafuta basiimye omugagga Godfrey Kirumira okutandikawo labalatole esoose ey’obwa nannyini eyekebejja omutindo gw’a mafuta mu ttaka.
Kino kye kiseera ekituufu bannayuganda abalina ssente okwenyigira mu bizinensi ze by’okusima amafuta nga tulindirira amafuta agasooka agagenda okutandika okusimibwa mu Uganda mu 2025.
Omugagga Kirumira ng'ali n'abakungu abakulira amafuta
Abakungu okuva mu kitongole kya “Petroleum Authority Of Uganda” [PAU] ekirungamya eby’okusima amafuta abakulembeddwamu James Musherure Rujoki avunaanyizibwa ku bya kontulakiti ne Robert Tugume okuva mu kitongole kya bayinginiya ku Lwokuna balambudde labalatole y’omugagga Kirumira esangibwa ku Lumumba Avenue ne basiima omutindo gweriiko.
Tugume yagambye nti Uganda okuva lwe yatandika okusima amafuta tebadde munnayuganda ssekinnoomu eyali atandisewo kkampani erina labalatole eyekebejja obungi bwa mafuta n’omutindo gwago nga gakyali mu ttaka okuggyako eno eya “Icon Industry Services U Ltd” eyatandikiddwawo Kirumira.
Yagambye nti labalatole yokka eyekebejja obungi bwa mafuta n’omutindo Uganda ey’omuntu ssekinomu tebaddewo okuggyako eya gavumenti mu minisitule y’e by’obugagga obwo mu ttaka naye ekirungi twegatiddwako “Icon Services” eya Kirumira.
Omugagga Kirumira ng'ali n'abakungu okuva mu kitongole ekirondoola omutindo gw'amafuta
“Ekituleese wano twabadde twagala kulaba busoboozi kkampuni ya “Icon Services” bwerina kubanga bulijjo emirimu gy’okwekebejja obungi bwa mafuta egisinga gibadde gitwalibwa bweru wa ggwanga naye okusinziira ku kyetulabye wano balina obusoboozi bwe bwabeera bawereddwa omwaganya” Tugume bweyategezezza.
Yayongeddeko nti Uganda bwefuna amakampuni nga “Icon Services’ agaweera ensimbi ezibadde zifuluma okulaga ebweru w’e ggwanga okwekebejja amafuta gaffe zibeera zisiggala mu Uganda ne zizimba eggwanga lyaffe.
Yasabye buli atandikawo kkampuni ekika bwekiti oba yonna egwa mu by’okusiima amafuta agende eri ekitongole kya “PAU” bamulungamye aleme kufiirwa ssente zze.
Musherure Rujoki yagambye nti emabegako bizinensi ye by’okusiima amafuta ebadde wansi nnyo kubanga gavumenti ebadde ekyateekateeka gattako okukkanya ku bintu eby’enjawulo n’e bitongole ebigirinaako obukugu ku biki ebirina okukolebwa
“Gavumenti ebadde ekyasalawo omudumu gwa mafuta gugenda kuyitawa? Ebya mateeka agagenda okulungamya omulimu guno n’amateeka ekintu ekigitwalidde ebbanga wabula mu kiseera kino byawede era ye nsonga lwaki ffe nga aba “PAU” twasazeewo okunoonya Kirumira” Musherure bweyategezezza.
Yakakkasa bannayuganda nti amangu ddala tugenda kuyimiriza okutwala sampo za mafuta gaffe mu nsi z’e bweru mu mawanga nga Amerika, China, France okugekebejja kubanga ebyuma bye ndabye aba “Icon Services” bye balina bya mutindo gwa waggulu.
Kirumira ng'ali n'abamafuta
Godfrey Kirumira yagambye nti eby’okusiima amafuta bwe byali bitandiika yalengerera wala natandiikawo labalatole eyekebejja omutindo gwa mafuta n’obungi bwago mu ttaka kati emyaka 12, emabega lwakuba tebafunyemu emirimu gavumenti egitwala bweru.
Ebyuma twabigula mu ggwanga lya Colombia ttaani kumpi 45. Ne tuleterako n’abakugu era tubadde nabo okumala emyaka munana nga tetulina mirimu ne nsalawo okubaleeka bagende.
“Twali tutandiika labalatole eno batusuubiza gavumenti nti tegenda kuddayo kutwala mirimu gya kwekebejja mafuta wa bweru wa ggwanga nga tulina wano kkampuni ezirina obusoboozi obukola emirimu gyegimu kyokka tekyakolebwa lwakuba” Kirumira bweyategezezza.
Yayongeddeko ekirungi ku mulundi guno Gavumenti ye yatwenoonyereza katusubire naffe okutandiika okukola kubanga abasinga ku bannayuganda abateeka ssente mu byamafuta bbanka za batwalako dda ebyabwe lwakuba nze nali sikozesa ssente za bbanka