Omugagga asengula ekyalo bamukutte n’akawanga k’omuntu mu nnyumba ye

POLIISI y’e Wakiso ekutte omugagga asengula ekyalo, n’akawanga k’omuntu ke yali yakweka mu mpuku gye yasima mu nnyumba ye. Alex Ssentongo ye yakwatiddwamu maka ge ku kyalo Muyomba mu Wakiso.

Sunak Ssentongo ng’asitudde akawanga k’omuntu.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

POLIISI y’e Wakiso ekutte omugagga asengula ekyalo, n’akawanga k’omuntu ke yali yakweka mu mpuku gye yasima mu nnyumba ye. Alex Ssentongo ye yakwatiddwa
mu maka ge ku kyalo Muyomba mu Wakiso.
Ssentongo yakwatiddwa abapoliisi n’abaamagye abaazinzeeko amaka ge ku ssaawa 10:00 ez’ekiro ekyakeesezza Mmande. Aludde ng’anoonyezebwa ku bigambibwa
nti asengula abantu abasoba mu 1,000 abali ku kyalo ekiramba.
Yatwaliddwa ku poliisi e Wakiso n’akawanga ke era okusinziira ku DPC w’e Wakiso,
Ramadhan Tai, Ssentongo yagattiddwa ku ffayiro ya Nnaalinya Luwedde Namaalwa
ne bbulooka w’ettaka Simon Kyomuhendo abaasooka okukwatibwa ku by’okwagala
okugoba abantu ku ttaka.
Poliisi mu kwaza ennyumba ya Ssentongo, yagudde ku mpuku erimu ebyawongo ssaako amafumu n’ebiso ebigambibwa nti by’akozesa okulumba abantu.
Mu kisenge gy’asula, poliisi yasanzeeyo akawanga k’omuntu n’amagumba nga
bino Ssentongo yali abikukumye wansi w’ekitanda nga n’ekisenge kirabika kibadde
tekit  a kuggulwawo.
Poliisi yamwogezza lwaki abeera n’akawanga kano n’ategeeza nti akuuma kawanga
ka waaluganda lwe ekintu ekyayongedde okutabula abaserikale ssaako ne bambega
abaabaddewo.
Abavubuka babiri okuli;Joseph Kalule ne Brown Atusingwire nabo baakwatiddwa
ku bigambibwa nti be bamu kw’abo ab’ebijambiya Ssentongo be yatwala ku kyalo
okutigomya abatuuze.
Ku Lwomukaaga, poliisi ng’eri wamu ne RDC wa Wakiso, Justine Mbabazi, baakubye olukiiko ku kyalo Muyomba oluvannyuma lw’okufuna amawulire nti waliwo abatuuze Ssentongo b’alumba mu kiro n’abakuba ng’abalagira okwamuka ettaka. RPC wa  ampala Metropolitan North, Gerald Twishime yasinzidde mu lukiiko luno n’akwata Nnaalinya Luwedde eyeeyita omu ku bannannyini ttaka ne bbulooka Kyomuhendo. Yalagidde abaserikale be okunoonya Ssentongo era kwe kumukwata
eggulo.