Amawulire

Omubaka awazeOmubaka w’abakozi eyawangudde ogw’obululu awaze

KKOOTI ento e Makindye ekakasizza obuwanguzi bwa Phiona Nakku ku ky'omubaka w'abakozi omukazi n'egoba okusaba kwa Agnes Kunihira eyabadde ayagala okubala obululu kuddibwemu

Omubaka w’abakozi omulonde Nakku (wakati) n’abawagizi be ku kkooti nga bawaga.
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

KKOOTI ento e Makindye ekakasizza obuwanguzi bwa Phiona Nakku ku ky'omubaka w'abakozi omukazi n'egoba okusaba kwa Agnes Kunihira eyabadde ayagala okubala obululu kuddibwemu.
Omulamuzi Gladys Kamasanyu mu nsala ye, yagobye okusaba kwa Kunihira ng'agamba nti, ensonga kwe yeesigama okulumiriza Nakku nti, yamusinga obululu 3, teziriimu ggumba era tewali kyetaagisa kuddamu kubala bululu.
Kamasanyu yannyonnyodde nti, obujulizi bulaga nti, Kunihira yakozesa obukambwe bw’amaanyi mu kifo awalonderwa ng’agezaako okuwaliriza eyakuliramu okulonda okumulangirira mu bukyamu.
Omulamuzi yalagidde Kunihira aliyirire Nakku ssente n’obudde by’ayonoonedde mu musango guno. Nakku eyeesimbawo ku lulwe, yawangula Kunihira (NRM) era nga ye mubaka abaddeyo ku bululu 290 ku 287 ekyamuviirako (Kunihira) obutamatira n’addukira mu kkooti.
Okuwulira omusango guno okwasombodde abanene abeegattira mu bibiina by'abakozi nga baakulembeddwaamu eyali abakulira Usher Wilson Owere, baalaze essanyu olw'obuwanguzi bwa Nakku ne bategeeza nti, kati balinze kulaba ng’abaako by'abasakira mu Palamenti n'okulwanirira eddembe n'obwenkanya bw'abakozi

Tags: