Olutalo lwa Kamulegeya ne Nakibinge lusajjuse

OBUTAKKAANYA bw’Omulangira Dr. Kassim Nakibinge ne Sheikh Obed Kamulegeya obumaze ebbanga busajjuse ne beeyogerera ebisongovu.

Omulangira Nakibinge ne Sheikh Kamulegeya lwe baasaalira Sheikh Kayongo eyali Supreme Mufti.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OBUTAKKAANYA bw’Omulangira Dr. Kassim Nakibinge ne Sheikh Obed Kamulegeya obumaze ebbanga busajjuse ne beeyogerera ebisongovu.
Nakibinge yasinzidde ku mukolo kwe yakwasirizza Imaam Kasozi emmotoka  eyaguliddwa Abasiraamu nga bamusiima n’ayogera mu lujjudde ensonga eyabaawukanya ne Kamulegeya.
“Obuzibu bwe mbadde nabwo ng’omuntu, omuntu bw’ankola ekintu nsirika gwe n’olegesa. Naye nkizudde ng’abasinga ate temuntegeera. Njagadde mukimanye ekyatwawula ne Obed Kamulegeya leero.
Sheikh Kayongo bw’afa, twakkiriziganya tulonde Supreme Mufti omulala. Sheikh Kamulegeya yavaayo n’akiwakanya ng’agamba ti tetulonda mbu Gavumenti erina
 birala by’eteekateeka. Twamugamba tebitukwatako era ne tufuna obutakkaanya. Yatandika okumpeereza obubaka obuntiisatiisa  yatuma Medi Ssebaggala
(muganda wa Latif Ssebaggala) nti Kamulegeya agambye bw’otaakole by’akugamba ajja kukukola kye yakola kitaawo.
Namuddamu nti mu bajega mwembi sinnabalaba, naawe gwe batumye. Ohhamba otya ebyo, waakiri wandisirise era ne mmugamba naawe weeraba era we twavaokwawukana.  Twatuula ne Sheikh Muzaata ne tulaba nga yali ayiseewo ne tugamba katumugobe misana, bw’aba alina ky’anaatukola akitukole misana. Bwe tutyo ne tumugoba. Naffe twagezaako okuba nga Imaam Kasozi naye ye yatutanula. Gye buvuddeko nagenda e Kajar  gye bazaala Imaam Kasozi naye basajjabakulu abali mu myaka 80 bye bahhamba, namanyira ddala nti omusajja ebyafaayo bye biddugala...” Nakibinge bwe yagambye.
Omulangira yatenderezza Imaam Kasozi olw’okubeera n’omutima ogusonyiwa, n’asobola okutoolera Kamulegeya Salaamu ng’amanyidde ddala bye yatuusa ku bakadde be n’Abasiraamu b’e Kajara.
MEDI SSEBAGGALA ABYEEGAANYE
Haji Medi Ssebaggala, Omulangira gw’ayogerako ng’eyatumwa Sheikh Kamulegeya kye yayise okumutiisatiisa, yeegaanye byamwogeddwaako n’agamba nti tewali yali amutumye era talina kye yali agambye Mulangira. Yasuubizza nga bw’agenda okumutuukirira boogere ku nsonga zino. “Sheikh tantumangako wa mukama wange Mulangira era sirina kye nnali mugambye. Ayinza okuba ng’omukulu yantabudde
n’omuntu omulala. Mulangira mukama wange era akyali mukama wange kuba omuzikiti
 gw’e Kibuli mwe nkulidde okuva ku myaka ena nga gye tusaalira
Juma ne taata. Ne Juma ewedde gye nnasaalira.  mabegako waaliwo ekyatutabulamu katono ne mukama wange, kyokka ng’ensonga yali ya nju mwe nva so si nze ng’omuntu. Kyokka twatuula mu nsonga nga waliwo n’abatabaganya era tutambula bulungi,” Ssebaggala bwe yagambye.
KAMULEGEYA KY’AGAMBA
Sheikh Kamulegeya bwe yabuuziddwa ku butakkaanaya bw’alina ne Jjajja w’Obusiraamu Kassim Nakibinge yagambye nti si buli ensonga eyogerwa ku muntu nti abeera alina okugyanukula.
ABANTU AB’ENJAWULO BOOGEDDE
1. Imaam Kasozi bwe yatuukiriddwa yagambye nti kyetaaga okusooka Omulangira Nakibinge ne Sheikh Kamulegeya bababuulire obutakkaanya bwabwe kwe bwava. Buli omu bw’anaawa oludda lwe, olwo kibeera kyanguyira abalala okubaako we batandikira okubatabaganya. “Lwaki tobuuza bo” obutakkanya bwabwe mbwogereko ntya, ekirungi
 bombi weebali. Genda obabuuze. Omu asobola okwogera amazima, kyokka ate omulala n’akulimba.
Kasita kizuuka nti waakiri buli omu alina ky’ayogedde olwo ffe abalala tusobola okubawabula. Tumanyidde wa nga waliwo ddiiru eyabaawula ng’omu yagireeta,
 ate omulala n’agigaana. Tulina n’okwebuuza ani yadduka ku munne ogusembyeyo,” Kasozi bwe yagambye.
2. Mufti wa UMSC ow’ekiseera, Sheikh Abdallah Ssemambo yagambye nti abakulu bombi beetaaga okutuuza. Kyokka ababatuuza balina kuba bantu abatalina ludda eri enjuyi zombi. Abamu ku basobola okubatuuza kuliko; Haji Faisal Kasujja, Haji Moses
Kigongo, Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga ne Ssaabalabirizi w’Ekkanisa ya Uganda Dr. Stephen Kazimba Mugalu.
3. Eyaliko omumyuka wa Supreme Mufti, Sheikh Muhamood Kibaate yagambye nti obutakkaanya bw’abakulu teyabuliimu era tamanyi kwe bwava. Yasabye ababulimu bennyini basale amagezi okubumalawo.
4. Ye Amir Ummah akulira Abatabbuliiki, Sheikh Yunus Kamoga, yagambye nti obutakkaanya bw’abakulu yabulabidde ku mitimbagan era tasobola kubwogerako.
5. Ssentebe wa LC 1 owa Kamalimali zooni e Bwaise, Haji Muhamoud Ssentamu, yagambye nti musajja mukulu ekimala azze yeetegereza ensonga z’Obusiraamu. “Kamulegeya kye kizibu kuba yayitiriza okwagala ebitiibwa n’okwegulumiza. Abakulembeze abaavaako baasigala bakkakkamu. Mu 1977 yagamba nti ye Kabaka wa fitina era alina enkokoto n’emitayimbwa gyayo. Ebbanga lyonna Mulangira abadde mulambulukufu era kwe tusibidde,” Ssentamu bwe yagambye