Abasajja babeere basaale mu kulwanisa mukenennya
Dr.Nakindu Prosperous Kavuma Minisita wa kabaka ow’ekulakulana y’abantu, eby’obulamu wamu eby’enjigiriza atongozza ekyoto ky’ebyobulamu kwebasomeseresezza abaami bakabaka engeri y’okwetangiramu siriimu.
Ebyoto bikoleddwa mu magombolola ga Buganda Gona nga mu Buganda omukolo omukulu Minisita agukoledde Nangabo ku Ggombolola mu Ssaza kyaddondo, ebyoto bino abitongoleza ku mulamwa ‘Abasajja babeere basaale mu kulwanisa mukenennya.
Misita Nankindu ng'annyonnyola kubuvunanyizibwa bw'abasajja muku;lwanyisa akawuka ka mukenya
Nga minisita tanatongoza kyoto, Ssalongo Kigonnya Robert Luswaata omwami wa kabaka atwala e Ggombolola ye Nangabo nga ali wamu n’omumyuka we Nalongo Aisha Nazziwa basoose kulambuza Minisita emirimu egikolebwa ku Ggombolola omuli ne ddwaliro abaami bakaba lyebazimba ku kitebe kye Ggombolola e Nangabo.
Kigonya ategezezza Minisita nti eddwaliro lino lyebazimba liri ku mutendera gwa Hospital era nga baagala balikwasse KABAKA Ku mattikira ge omwaka ogujja mu mwezi gwa Musanvu, wano wasabidde abantu Kabaka bonna okubeera nga bamuddukirira nga bawaayo ssente omulimu gusobole okwanguwa.
Dr.Nakindu Prosperous Kavuma asinzidde wano nakuttira abasajja okuteeka munkola byona ebibagambibwa abasawo kubanga bebasinze okutambuza mu kenennya.
Kyo 8(5)
Abasomesa abasomeseza mubadde ne Dr.Zaituni Baboolamwamu nga ono yakulira ekitongole ky’omumuli mu ssaza kyaddondo , ategeeza nti abasajja bangi balina ettima nga tebagala kukozeza Condom ekiviiriddeko siriimu okweyogera mu Buganda ne Uganda.
Ate ye Dr Phionah Kalinda akulira ebyobulamu mu Kyaddondo asabye abasajja okukwata obulungi abakyaala bwebategeera nti balwadde.