OLUKWE lw’ekisinde kya Patriotic League of Uganda, okusuuza akulira oludda oluvuganya mu Palamenti Joel Ssenyonyi, n’okujaabulula amaanyi ga NUP ag’okulonda abakulembeze b’oludda oluvuganya, lwolekedde obulippo obw’amaanyi.
Omubaka Denis Namara (Buyaga West), Palamenti yamuwadde olukusa okukola ennongoosereza mu tteeka erifuga entambuza y’emirimu mu Palamenti erya Administration of Parliament Act, ng’ayagala okuteekamu obuwaayiro obulambika engeri akulira oludda oluvuganya mu Palamenti gy’agobebwa mu kifo ekyo, engeri gy’alondebwamu, n’engeri ebifo bya bassentebe b’obukiiko obukulirwa oludda oluvuganya gye balondebwamu. Namara yagambye nti, wabaddewo obwannakyemalira mu kulonda ebifo by’oludda oluvuganya mu Palamenti, ng’ebibiina ebirala ebitaafuna babaka bangi tebyebuuzibwako, ky'agamba nti kiba kikyamu mu nfuga eya demokulasiya.
Wabula ab’oludda oluvuganya bagamba nti, bagenda kuwakanya etteeka lino ne ssekuwakanya yenna, kubanga lireeteddwa mu mutima mubi, era ligenderera kunafuy udda luvuganya, kyongere okutta demokulasiya.
EBIRI MU TTEEKA LYA NAMARA
Namara mu buwaayiro bw’ayagala okuteeka mu tteeka lino kuliko; l Ebibiina by’oludda oluvuganya oba omukago gw’ebibiina by’oludda oluvuganya, n’ababaka abatalina kibiina kya byabufuzi, okwetaba mu kulonda akulira oludda oluvuganya mu Palamenti.
l Era ayagala okussaamu ensonga ezireetera akulira oludda oluvuganya okuggyibwa mu kifo kino, omuli; okufuna obulemu ku mubiri oba mu bwongo, okusiiwuuka empisa, okumenya amateeka, n’obutaba na busobozi oba ebisaanyizo okutuula mu kifo ekyo.
l Omuntu abeera agobeddwa mu kifo ky’akulira oludda oluvuganya, Namara ayagala aleme kuddamu kuweebwa kifo kirala kyonna mu Palamenti, mu kisanja ekyo.
l Era ayagala baminisita ku ludda oluvuganya, Palamenti yonna esooke kubakakasa ku bifo byabwe.
l Mu kulonda abakulira obukiiko obukulemberwa oludda oluvuganya, ababaka b’oludda oluvuganya abakiika mu Palamenti ezitaba amawanga ag’enjawulo, ne kominsona wa Palamenti ava ku ludda oluvuganya, Namara mu nnongoosereza z'aleeta ayagala bwe baba balondebwa, akulira oludda oluvuganya asooke kwebuuza ku bibiina byonna eby’ebyobufuzi mu Palamenti.
Ku mulundi guno kino kirindiriddwa okulaba oba erya Namara banaaliwagira. Omubaka Richard Lumu, yagambye nti etteeka lya Namara ligendereddwaamu kunafuya ludda luvuganya, era ajja kugenda mu kakiiko aliwakanye.
Lumu agamba nti ye yali ayagala kwongera bibiina bya ludda luvuganya maanyi nga buli kibiina kiwulira nti kirowoozebwako.
Ye yali ayagala ebibiina ebivuganya byonna bironde, naye nga bironda ku bantu abasindikiddwa ekibiina ekisinga ababaka abangi mu Palamenti, kyokka ate ye Namara ayagala buli wa ludda luvuganya ayagala yeesimbewo, ate n’ababaka abatalina bibiina nabo balonde, ekintu ekikyamu ennyo, ekigenda okunafuyiza ddala oludda oluvuganya.
Wabula yakiikidde aba NUP ensingo olw’obutalaba muwaatwa gwaliwo ne badda mu kumuvuma mu kifo ky’okusalira awamu amagezi, kubanga ye yakiraba dda nga waliwo omuwaatwa NRM gw’esobola okukozesa okubanafuya.
Kyokka demokulasiya bwe yagenda akula, kyazuulwa nti omuntu asobola okuwakanya amateeka amabi n’enkola za gavumenti, naye ng’akikolera mu mutima ogwagala eggwanga lye. Enkola eno yasaasaana mu mawanga Bungereza ge yafuga ng’amatwale nga ne Uganda mw'eri.