Obulabirizi bw'e Mukono bubangudde abawala 50 mu by'emikono

Obulabirizi bw'e Mukono wansi w'eddwaliro lya Mukono Church of Uganda Hospital n'ekitongole Kya Makerere University Walter Reed Project (MUWRP) baliko abawala 50 be babangudde mu misomo gy'eby'emikono egy'enjawulo.

Obulabirizi bw'e Mukono bubangudde abawala 50 mu by'emikono
By Saul Wokulira
Journalists @New Vision

Bano basiibuddwa omulabirizi w'e Mukono, James William Ssebaggala ng'obulabirizi bukuza olunaku lwa Lukka omutuukirivu olukuzibwa nga October 18.

Emikolo gino gitandise n'okusaba nga mukyala w'omulabirizi, Tezrah Ssebaggala y'abuulidde n'asaba abawala bano okubeera abeesigwa era abatya Katonda mu mirimu gye bagenda okukola ng'olwo lwe bajja okwongera okwenyumiriza mu kirabo kye batuseeko olwaleero.

Olw'okuba abasinga ku bawala bano baali baawanduka dda mu masomero omuli abazaalako, omulabirizi Ssebaggala bano abakalaatidde okutwala omukisa guno ogw'okubiri gwe bafunye ng'ekikulu era baleme kuddamu kwejajaamya na kuwebuula mibiri gyabwe.

Abawala bano era baweereddwa n'ebikozesebwa bye bagenda okutandika nabyo omuli abayize okutunga ebyalaani, abayize okufumba, okusiba enviiri, okulabirira abalwadde n'abalala. 

 

4a6b5026 7672 4363 B89c 511a357aba15

4a6b5026 7672 4363 B89c 511a357aba15

13a81d75 C8d9 495f B481 1deb0ee34626

13a81d75 C8d9 495f B481 1deb0ee34626