Amawulire

Nnaku! Ttuleera ebadde eggya ebintu okuva e Mombasa ng'eyolekera Kampala eyidde yonna n'eggwaawo e Bugiri

EBINTU ebibalirirwamu obukadde bw'ensimbi, bisirikkidde mu muliro ogukutte lukululana yonna n'eggwaawo.

Nnaku! Ttuleera ebadde eggya ebintu okuva e Mombasa ng'eyolekera Kampala eyidde yonna n'eggwaawo e Bugiri
By: Godfrey Kigobero, Journalists @New Vision

EBINTU ebibalirirwamu obukadde bw'ensimbi, bisirikkidde mu muliro ogukutte lukululana yonna n'eggwaawo.

Abantu nga bakungaanidde ku lukululana kumakya eyaidde n'eggwaawo

Abantu nga bakungaanidde ku lukululana kumakya eyaidde n'eggwaawo

Enjega eno, eguddewo nga tuleera eri ku luguudo etambula wakati wa Bugiri ne Naluwerere ng'eriko ebintu ebyeyambisibwa okukola obuveera n'ebya pulasitiika by'ebadde ejja e Mombasa okubitwala e Kampala.

Lukululana esaanyeewo, omutwe gwayo gubadde nnamba KBX 659 S nga gusika ekyana nnamba ZHG 153 ng'egambibwa okuba nti ebadde  ya kkampuni ya Kengint International Ltd era ng'ebadde evugibwa ddereeva ategeerekeseeko erya Silverster.

Omwogezi wa poliisi mu Busoga East, Micheal Kafayo, ategeezezza nti tewali alumiziddwa mu muliro guno era nga gwandiba nga guvudde ku biziyuza byayo kyokka okunoonyereza kugenda mu maaso.

Tags:
Amawulire
Ttuleera
Kabenje
Kuggya