Akulira okuwandiisa Ndaga muntu mu NIRA Olama Claire akubiriza abazadde okuwandiisa abaana baabwe okufuna Ndaga muntu. Bino abyogeredde mu lukungana lwa banamawuliire olutuula ku kitebe Kya poliisi e Naguru buli Monday.
Abantu beyongedde okwewandiisa n'okuzza obuggya Ndaga muntu zaabwe. Akulira okuwandiisa Ndaga muntu mu NIRA Olama Claire agamba nti abantu obukadde busatu ne kitundu bebakaza obugya Ndaga muntu zabwe. Agamba nti abantu abakulu bagya bungi okwewandiisa naye kyenyamizza okuba nga baana tebafiridwako.
Agamba okuwandiisa abaana kuyamba abaana okufuna obugyangyabi. Alabudde abantu obutatya ebibuuzo bingi byebabuuza. Akubirizza abantu obutya kwewandiisa kuba ebyuma byabwe babikuma bulungi.