Nandala ne Amuriat balaze amaanyi e Mbale

Ssenkaggale wa FDC ey’ekiwayi ky’e Najjanankumbi, Patrick Oboi Amuriat wamu nessaabawandiisi w’ekibiina, Nathan Nandala Mafabi balaze amaanyi nga bayingira Mbale, bwe baaniriziddwa enkumi n’enkumi za bannakibiina kya FDC okuva mu Bugisu. Baasoose kuyisa bivvulu mu kibuga olwo ne boolekera mu kisaawe kya cricket ground gye baakubye olukung’aana

Nandala Mafabi ng’ayogera eri bannakibiina e Mbale.
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

Ssenkaggale wa FDC ey’ekiwayi ky’e Najjanankumbi, Patrick Oboi Amuriat wamu ne
ssaabawandiisi w’ekibiina, Nathan Nandala Mafabi balaze amaanyi nga bayingira Mbale, bwe baaniriziddwa enkumi n’enkumi za bannakibiina kya FDC okuva mu Bugisu. Baasoose kuyisa bivvulu mu kibuga olwo ne boolekera mu kisaawe kya cricket ground gye baakubye olukung’aana. Nandala yagambye nti ekigendererwa kyabwe okutalaaga eggwanga kwe kuzza bannakibiina awamu abaali baawukanye n’omuyaga.
Basiimye bannakibiina mu Bugisu okubalaga obuwagizi ne bajja mu bungi okubaaniriza. Amuriat yasabye bannakibiina okwewandiisa okufuna kkaadi z’ekibiina eza digito nga FDC be basoose okuba ne kaadi zino. Abasabye okuba obumu bwe bajja okutwala obuyinza mu 2026. Wabula bannakibiina basabye Amuriat entebe ya pulezidenti w’ekibiina agirekere Nandala Mafabi akwatire ekibiina bendera mu kulonda kwa 2026, n’abategeeza nti bagenda kutuula beegeyeemu bajja kubategeeza. Bannakibiina bagamba nti Nandala Mafabi asobola bulungi okuvuganya Pulezidenti Museveni bw’aba aweereddwa omukisa.