YAYOGERWANGAKO ng’omusumba w’abalokole asinga amaanyi mu Africa. Yakung’aanya endiga 12 n’azifuulira ddala ‘endiga’ n’azigamba nti, essaawa eyo zaali zifuuse ‘bayigirizwa’, Nga Yesu bwe yalina ‘Abayigirizwa oba abatume be 12’, ne kabwejungira ono yali atuuse okwerabira mu kifaananyi ekyo.
Ono ye ku bayigirizwa be oluvannyuma yayongerako ne zifuuka 16. Ekyo bwe yakiggumiza endiga n’aziteekamu n’ekirala; nti singa zijeemera ‘Yesu’ ne ziva mu kisibo ky’ekkanisa ye mwe zaalina okuweerereza mu nteekateeka ze ez’ebyamagero omwali okuwonya abantu, okubagaggawaza n’okubawonya ebibamba okuyita mu kukola eby’amagero, baali baakufa!
Olw’embeera eno abaweereza bano tewali yalina kuva mu kkanisa (ku buwaze obwekusifu) era gaafuuka maka. Bano nga tebabaako kyama kya kkanisa kye bafulumya ku bigenda mu maaso.
Ayogerwako ye TB Joshua ow’ekkanisa ya Synagogue Church of All Nations, omusumba eyali ow’amaanyi e Nigeria nga n’Abazungu abasinga be batya nabo baatuuka nga bamutya nga ‘yawunzaamu’ abamu n’abayingiza ekitimba ky’ekifere eky’okukola ebikolobero okuli okufera ssente nga bayiiyiriza eby’amagero, okutta abantu, okukwata abawala n’abakazi n’ebikolobero ebirala.
OKWANIKA EBY’EKIFERE BYE
Bannamawulire ba BBC abaatuumiddwa mu mawanga ag’enjawulo baamunoonyerezzaako ne baanika obuziina bwe.
Mu lukujjukujju yapangisa n’Abazungu okumukolera erinnya mu Bulaaya kwe yagattanga okwogera n’akunkumula n’ennyenje nga bw’akola ‘n’ebyamagero’ bye yapanganga ‘n’Abatume’ abaabisaasaanyanga ensi yonna abantu ne beesomba okuva mu nsi yonna era abalirirwa nti buli wiiki abantu nga 50,000 be beesombanga okusabira mu kkanisa ye. Ekiseera kyatuuka nga kumpi ku bagwira ebitundu 60 ku 100 abajjanga e Nigeria baalinanga okutuukako mu kkanisa ye wamma n’akola omudidi. Kino kyamufuula muganzi eri ne Gavumenti era olumu mu 2014 bwe yasiinyaako ku by’okusengula ekkanisa agitwale e Yerusalemi mu Yisirayiri, Pulezidenti wa Nigeria Jonthan yeesitula n’ayingira mu by’okumuwooyawooya ekkanisa esigale e Lagos.
Akabadi k’okusonganga
omu ku bawala oba ‘abayigirizwa’ asanga munne. Era mu byonna ebyagendanga mu maaso kumpi buli omu teyamanyanga oba ebyamutuukangako ne banne byabatuukangako olwo ne babeera omwo bonna nga buli omu cce!
Abawala yabalaganga nti gw’akikozeeko ye yekka gw’akituusaako ate ku lw’okulafuubanira kwe okutuuka ku ‘bulokozi’ bwe era bangi beetegeera luvannyuma nti bonna yali abakuluusanya.
EBINTU OKUMANYIKA
Kyava kw’omu okunyumizaako munne obulumi bwe yali ayitamu ate naye n’amuddamu nti naye bw’ali. Wano ekintu we kyayabikira wadde tebyafuluma bweru wa kkanisa. Eyakisiinyaako yamulangira mu lujjudde lw’ekkanisa nga bwe yali ayagala okwonoona Ekkanisa ng’awaayiriza omusumba akolera abantu eby’amagero. Ono abagoberezi mu kkanisa katono bamugajambule.

Ekkanisa ya TB Joshua
EKITONGOLE EKINOONYA ABAKAZIEkyo kyakulirwanga omukyala eyeeyise Bisola mu kunoonyereza okwakoleddwa n’akkiriza nti naye yakikolanga mu buwaze. Omulimu gwe gwali gwakunoonya bawala bato embeerera ab’okuganza.
Ye kennyini naye agamba nti Joshua yamukakanga omukwano buli lwe kyamutikkanga wadde nga n’olumu yabanga yamuleetedde ‘embooko’ abaali tebannaweza na myaka 18.
Jessica Kaimu munnamawulire w’e Namibia naye yagambye nti Joshua yamukwata ku myaka mito bwe yagendayo okusaba.
Omuwala omulala eyeeyogeddeko erinnya erimu erya Rae ow’emyaka 21, yanyumizza nga bw’akaaba olw’obulumi bwe yafunira ewa Joshua gye yagenda okufuna eggulu nga n’abeewaabwe tabagambye ate n’emufuukira ggeyeena kabisa. Rae kati yaddayo ewaabwe e Bungereza
Mu mboozi eyasirisizza n’abayise, yannyumizza nti kimuluma omuntu eyamuyisa mu mbeera embi yafa tavunaaniddwa.
Joshua yakwatanga abakazi n’abawala n’abatunuza mu mbuga ya sitaani bwe yabuzaabuzanga nti abasabira ne bamuyitiramu ebizibu, bwe yamanyanga obunafu bwabwe n’alyoka abakaka akaboozi.
Rae eyagenda ewa Joshua ng’ayagala kumusabira mu wiiki ng’emu awone ebizibu bye yalina nga bwe yalabanga Joshua ng’asabira abantu ku tivvi ne social media ne bawonerawo kyokka yeewuunya bwe yasangayo birala.
Ono yawuddiisibwa ne bamuwadiika mu bitabo by’abatume era okwetakkuluza ku kkanisa eyo kyamutwalira emyaka ng’abonyabonyezebwa ate ng’atya okuvaayo kubanga Joshua yabalagula nti eyandigezezzaako ne yeebulankanya n’ava mu kkanisa yali waakufa.
Anyumya ekkanisa yakuumwanga nnyo abaserikale nga n’okumutuukako mu ofiisi wayitanga mu miryango esatu egy’abakuumi ab’enjawulo.
Ekitongole kino ky’akolagananga n’ekyalimu abasajja kye yatuuma ‘Fishing department’ nga bano nabo baayigganga bawala mbooko mu kibuga Lagos.
EKITONGOLE EKIGGYAMU EMBUTOOlw’okuba ‘abayigirizwa’ abawala yabakuluusanyanga, abamu baafunanga embuto. Waabangayo abasawo ng’ogwabwe gwa kubaggyamu embuto ku kifuba. Bino tebyabanga kuwalira.
EKITONGOLE KY’EBYAMAGEROOmutume Agomoh Paul yategeezezza nti ye yali avunaanyizibwa ku by’okupanga ebyamagero.
Paul ye yalinga nnamba bbiri wa Joshua era yamala naye emyaka 10. Yali amanyi enkola za Joshua zonna kye yava amuwa ekitongole ky’ebyamagero. Oyo nno yagambye nti, Joshua yafa talina kyamagero kituufu ky’akoze, byonna yayiiyanga biyiiye.
Abamu baabakaka okugamba nti baalina siriimu ne bawona. Abalala baabakubanga enjaga n’ebiragalalagala mu nkukutu ne bawona endwadde ng’omusujja n’okukaza ebiwundu mu bwangu olwo ne bawa obujulizi nti baasabidde basabire.
Paul ye yawandiisa Rae mu by’okubeera omutume ayongere okusikiriza Abazungu, era kye yakola obulungi.
Paul bwe yabadde ayogera yakaabye ng’ajjukidde ebibi bye yakola. Yagambye nti bangi okugenda ewa Joshua baali banoonya Katonda naye ne basangayo ggeyeena.
Obukodyo bw’okusuula abantu ebigwo mu kkanisa, okutuma abatume ne banyumya n’endiga nga tezimanyi nti musumba y’azisindiseemu bambega ne bamuwa amawulire agazikwatako olwo ye mu kusaba n’azisongako n’ayogera mu lujjudde ebizibu byazo n’okuziragula ebijja okuzituukako kyokka ng’abatume be baabimugambye.
Waliwo omu gwe yalagula nti mu wiiki emu agenda kufuna olubuto kyokka ng’endiga gye balagula ate ye yabinyumirizza omutume gw’etaategedde nti yabadde mbega wa musumba.
mu bantu ne bagwa ng’abalinnyiddwaako emizimu, kaamuwa obuganzi n’afera laavu ne ssente empya n’enkadde mu banoonya obugagga obw’amangu n’ab’ebizibu ebirala.
Yalina ekirevu ekiddugavu kye yateekangamu akadagala ne kimasamasa ne yeesuulira eminagiro n’akwata Bayibuli gye yalaguzanga olwo n’akola ebyafaayo mu kkanisa ebyaleetera abangi okumuyita Nabbi ‘kabisa.’
Joshua ng’amannya amatuufu ye Temitope Balogun Joshua, yafa 2021 kyokka waliwo n’abalina ekiteeso okuziikula omulambo gwe guvunaanibwe bwe waba waliyo amateeka agavunaana abafu olw’obulumi obungi bwe baawulira.
BBC baayogedde n’abantu 25 abagambibwa nti Joshua yabatuusa ku bikolobero ebitagambika nga bava mu mawanga ag’enjawulo okuli Bungereza, Nigeria, Ghana, America, South Africa ne Germany.
Ekkanisa ye ekyaliyo kati eddukanyizibwa mukyala we Evelyn.
‘FFIRIMU’ YA TB JOSHUAEky’enjawulo mu ‘Batume’ be ku ba Yesu abatuufu, ye yalinamu abakyala ate aba Yesu baali basajja bokka.
Abakyala abasinga be yawandiisa mu kkanisa ye, yayagalanga mbeerera era abamu ku bano be beesowoddeyo nga bagamba nti, yabasaliranga omusango ng’ababuuza nti, lwaki baali bakyali mbeerera era yabafuttubbalangako ku buwaze nti abawonya bibamba ebyalinga bibalemesa okufuna abasajja n’obufumbo!
Ekkanisa ye galikwoleka yaliko kalina n’amadaala ga mirundi ebiri agalinnya mu bisenge eby’enjawulo bye yalabirangamu abantu nga singa kakutanda n’oyita ku madaala g’ataakugambye, nga kakujjuutuka era bangi ku ‘batume’ be yabaweweenyuliranga ddala embooko empitirivu ng’ate olumala ekiwejjowejjo kukutunuza mu mbuga ya ‘sitaani’.
Amadaala okuba ag’enjawulo yakissangako essira nga ssi kulwa