Bya Ivan Wakibi
MUWALA wa Ezra Gabula ssentebe LC5 e Iganga, Shamim Gwokobera yoomu ku batudde ebigezo bya S.6 by’omwaka oguwedde era n’abiyita.
Gwokobera eyakola amasomo ga ssaayansi BCM/ICT yatuulira ku ssomero Hill View SS Bulangira nga yafunye obubonero 7.
Gabula agambye nga bwekimusanyusizza muwala we okuyita wadde nga yali amusuubiramu okusingako awo nti era mu kiseera kino bakyakubaganya ebirowoozo ku ssomo ly’anaatwala .
Alaze nga muwala we bwali omuvumu mu by’akola nga teeyetya ng’abaana abalala olw’ekikula kye nga ye mwennyini.
Gabula agamba nti ekikula ky’omuntu tekiraga buteesobola nga naye bwateetya n’asaba obwassentebe bwa disitulikiti era n’abuwangula mu kiseera kino abantu bamweyumirizaamu mu by'abakolera.