Bya Godfrey Kigobero
ABOOLUGANDA lw'omuwala gwe battira mu nnyumba e Sekanyonyi Busunju omulambo gwe ne bagusalako ebitundu eby'ekyama n'amabeere awamu n'olulimi, balaajanidde bekikwatako okubayamba okuzuula eyali amabega w'ekikolwa ekyo.
Omuwala ono Jesca Nakamatte 18, kigambibwa nti yattibwa mu ngeri ey'entiisa mu nnyumba mwe yali abeera ne muganzi we, era oluvannyuma lw'ekikolwa kino, omutemu n'asibira mu nnyumba omulambo n'abulawo, nga bagusanga guvundidde mu nnyumba.
Omu ku booluganda lw'omuwala ono, Joel Sekamatte, atutuukiridde wano ku ofiisi za Bukedde, agambye nti , olunwe balusimba ku eyali muganzi we gwe yaleka azaddemu omwana omu , eyabulawo nga ne kati taddangamu kukubwako kya mulubaale.
Annyonnyodde nti, walibaawo obugayavu ku ngeri abeebyokwerinda gye bakuttemu ensonga eno , kwe kusaba bekikwatako okubayamba mu kuyigga agambibwa okuba emabega w'ekikolwa kino, akwatibwe avunaanibwe mu mateeka.
Agasseeko nti, yaliba ng'omuvubuka aliko be yeekobaana nabo abalala, okusaddaaka Nakamatte era nga nabo, basaana okuyiggibwa.
Wabula omwogezi wa poliisi mu Wamala, Racheal Kawala, awakanyizza eky'okwesuulirayo ogwa nnaggamba ku nsonga eyo, n'agattako nti omuvubuka yadduka era bamunoonya.