OMUSUMBA w'ekkanisa ya Miracle Center Cathedral e Lubaga, Robert Kayanja asabye abakkiriza okutondawo emirimu mwe basobola okuggya ssente okwekulaakulanya.
Kayanja yabyogeredde mu kusaba kw'amazuukira ga Yesu Kristo n'agamba nti Uganda eteekeddwa okumanyika mu by'enfuna ebirungi okusinga ekintu ekirala kyonna.
Ono era yategeezezza nti waakuyimirirawo okulaba nga Uganda emanyikibwa ng'eyita mu by'obulambuzi n'asaba be kikwatako okukitwala ng'ekikulu kuba amawanga agasinga kino kibayambye okukulaakulana.
Yawadde eky'okulabirako nti kati giweze emyaka 120 bukya mukulembeze wa America Franklin Roosevelt atuukako mu Uganda e Kiryandongo n'agamba nti balina enteekateeka y'okuzimba ekijjukizo ekinaasombola abalambuzi Uganda okwenogera ku nnusu.
Yasabidde abali mu ntalo okuzikomya wamu n'abakulembeze ab'enjawulo okutebenkeza amawanga gaabwe.