Amawulire

Musumba Kayanja asabye Bannayuganda okuzimba eggwanga eryawamu mu 2025

PAASITA Robert Kayanja owa Miracle Center cathedral e Lubaga alangiridde omwaka 2025 nga bwe gugenda okubeera omuzibu omuli obukunizo obwamaanyi era ogwetaaga okukwatibwa n'obwegendereza.  

Musumba Kayanja ng'abuulira enjiri
By: Peter Ssuuna, Journalists @New Vision
PAASITA Robert Kayanja owa Miracle Center cathedral e Lubaga alangiridde omwaka 2025 nga bwe gugenda okubeera omuzibu omuli obukunizo obwamaanyi era ogwetaaga okukwatibwa n'obwegendereza.
 
Yasinzidde ku kkanisa ye amu kusaba okuggalawo omwaka n'ategeeza nti ennukuta 25 ng'omwaka oguyingiddwa mwekusiseemu ebyama okugeza ennukuta bbiri etegeeza ennyumba n'asaba bannayuganda okugezaako okuzimba amayumba mwe banaasulanga wamu n'okusabirangamu.
Abantu nga bali mu kusaba ewa Kayanja

Abantu nga bali mu kusaba ewa Kayanja

Yategeezezza nti ne Uganda yeetaaga okuzimba ng'ennyumba ereme kubeera muzigo gw'oyitamu obuyisi omutali bisenge era eyeetaaga okulabirira buli olukedde.
 
Kayanja yasabye bannaddiini, bannabyabufuzi, abasuubuzi okwekemba okuzimba Uganda ng'ennyumba efuuke eggwanga eryokweyagaliramu.
 
Ono era ng'asimbuliza mu kitabo ekitukuvu, yagambye nti ennukuta bbiri era etegeeza nnyumba ya mugaati n'asaba bannayuganda okufaayo ennyo okukuza eby'enfuna by'eggwanga nga beesigama naddala ku by'obulimi n'obulunzi nga kye kiyinza okuggya Uganda mu bwavu n'ennaku mw'etubidde.
 
Yennyamidde ku bintu bannansi bye bakozesa mu bulamu bwabulijjo okubeera ku miwendo egyawaggulu kyokka ng'eggwannga lirina obusobozi okubyenganga naddala singa essira liteekebwa ku kulima emmere n'akubira Gavumenti omulanga okugonza ku bukwakkulizo bwe bateeka ku balimi.
 
Musumba Kayanja ng'abuulira enjiri

Musumba Kayanja ng'abuulira enjiri

Mu bisomooza bye yagambye nti byefuze omwaka oguwedde, be bantu abaagala okukola kyokka nga tebalina busobozi n'awa eky'okulabirako ky'omuntu obutatuukiriza birooto bye newankubadde aba ayagala okubaako ky'atuukako era n'ayagaliza Uganda omwaka ogutandise ogw'emirembe.
 
Okusaba kwetabiddwa omubaka Derrick Nyeko akiikirira Makindye East mu Palamenti, akulira ababaka ba Pulezidenti Justine Mbabazi n'abalala.
 
Tags: