Mutabani w'omugenzi Apollo Nyegamehe amanyiddwa nga Aponye awuniikirizza abakungubazi mu lumbe lwa kitaawe bw'alabudde abateekateeka okuvaayo okweyita abaana b'omugenzi obutakikola.
Herold Byamugisa akulira kkampuni ya Aponye Uganda Ltd yasinzidde mu maka ga kitaawe e Lubowa akawungeezi k'eggulo n'ategeeza nga bamulekwa ab'omuntumbwe za kitaawe bwe bali 12, bokka era tebasubirayo kya kutwala baana b'omugenzi ku DNA okuzuulako abatuufu.

Amaka Gw'omugenzi Aponye Age Lubowa
Bino ono eyalondeddwa okwogera ku lwa bamulekwa yasoose kuwa baganda be ne bannyina omukisa okweyanjula nga abamu baavuddeyo ne bakyala baabwe era nga tannayogera kigambo kirala kyonna yagambye nti,
"Ka ntwale omukisa okutangaaza ku nsonga eno yadde Muzeeyi akuzizza abaana bangi mu maka ge naye abaana be ab'omuntubwe tuli 12 era tetusuubirayo mulala yenna kutwerimbikamu".
Yasabye abakozesa emikutu emigatta bantu okutyoboola amannya g'abantu okukikomya.
Ono yeeyamye ng'ali wamu ne banne okukuuma omukululo kitaabwe gw'alese era n'asaba abo bonna baabadde akolagana nabo okusigala nga batambula nabo.
Wabula ebigambo bya Byamugisha byajunguluddwa Nnamwandu Vangilsta Nyegamehe bwe yategeezezza ng'omwami we bw'abadde tasosola mu baana be era n'asaba abaana be okutambulira awamu n'okunyweza obumu.

Omumyuka wa Sipika Thomas Tayebwa ng'ayogera
Ono yawagiddwa omumyuka wa sipiika Thomas Tayebwa ng'olumbe lwetabiddwamu abakungu ab'enjawulo okwabadde Baminisita, ababaka ba Palamenti,bannamagye, abasuubuzi ab'oluganda n'emikwano.
Aponye waakuzikiibwa ku Lwokusatu mu makaage e Muhanga.