Mukomye omululu ku by'obugagga by'ensi - Fr. Mubiru

AMYUKA Cansala w’essaza ekkulu erya Kamapala Fr. Henry Mubiru yenyamidde olw’abantu abasusse okwegomba n’okulwanira eby’obugagga by’ensi, byagamba nti tebisobola kuyamba muntu kumutwala mu Ggulu okuggyako okumuzikiriza.

Mukomye omululu ku by'obugagga by'ensi - Fr. Mubiru
By Lawrence Kizito
Journalists @New Vision

Bino Fr. Mubiru abyogeredde mu Missa gyakulembeddemu ku lutikko e Lubaga olwaleero ku Sande nga October 10,2021.

Agambye nti mu kaweefube w’okukung'aanya eby’obugagga, abantu bakemebwa ne bakoleramu ensobi nnyingi ezikontana n’ebiragiro bya Katonda, ne batuuka okuva mu nsi nga tebakoleredde Ggulu kubanga obudde babeera baabumala beekunganyizaako byabugagga n’ekigendererwa eky’okuzimba Obwakabaka bwabwe ku nsi.

Abantu ab’ekika kino agamba nti tebasobola kugenda mu Ggulu, n’ajuliza eby’awandiikibwa mu Bayibuli (Mariko 10:17-30) Yezu we yagambira nti kyangu engamiya okuyingira mu nyindo y’empiso, okusinga omugagga okuyingira Obwakabaka bwa Katonda.

Awadde amagezi nti Katonda baawadde obugagga basaanye okubugabanako n’abantu abalala n’addala abali mu bwetaavu, kwossa okukulembeza Katonda mu buli kye bakola  kubanga kino Katonda kyabaagaza, okusobola okubanunula okuva mu kuzikirira.