‘Mukole ebirina kye bigatta ku bulamu bw’abalala’

OMUBAKA wa Paapa eyawummula, ssaabasumba Augustine Kasujja akubirizza abantu okulaba nga baleka omukululo omulungi mu bulamu bw’ensi naddala nga bakola ebyo ebirina kye bigatta ku bulamu bw’abalala.

Ssajjalyabeene, Omubaka wa paapa eyawummula Ssaabasumba Kasujja n’Omulangira David Wasajja (ku ddyo).
By Bukedde Omusunsuzi
Journalists @NewVision

OMUBAKA wa Paapa eyawummula, ssaabasumba Augustine Kasujja akubirizza abantu okulaba nga baleka omukululo omulungi mu bulamu bw’ensi naddala nga bakola ebyo ebirina kye bigatta ku bulamu bw’abalala.

Bino yabyogeredde Ndejje ku ssomero lya Aidan College ng’akulembeddemu Mmisa y’ebijaguzo by’essomero lino eby’emyaka 25.

Omugenyi omukulu yabadde Omulangira David Wasajja Kintu eyasiimye omutandisi w’essomero lino, Emmanuel Ssempala Kigozi Ssajjalyabeene olw’okwagala ennyo Buganda ne Uganda.

Wasajja yayogedde ku Ssajjalyabeene ng’ayagala ennyo Obwakabaka bwa Buganda y’ensonga lwaki yatuuka n’okufuna erinnya lya Ssajjalyabeene era ne Kabaka yatuuka n’okulambula ku ssomero lino.

Abayizi yabakubirizza okujjumbira ennyo okusoma. Omutandiisi w’essomero yasiimye
abamukwasirizzaako mu essomero lino emyaka 25 emabega okuli Obwakabaka obwamukkiriza okuzimba ku ttaka, bbulaaza Aidan eyamukwasizaako ng’afunye ekirowoozo ky’okutandika essomero era gwe yalibbulamu n’abalala.

Ssaabasumba, omulangira Wasajja, Ssajjalyabeene n’abalala baasaze keeki eyagabuddwa abantu.