Abakozesa mu mirimu egy’enjawulo basabiddwa okwongera okubangula abakozi baabwe mu bukodyo bwa tekinologiya, basobole okutuukana n’obwetaavu bw’emirimu ensi kweddukira okusobola okugikuza.

okuva ku kkono; Dr Kumar Pradeep dayirekita webyenjigiriza ku ISBAT, akulira abakozi mu NSSF Milton Steven Owor n'amyuka cansala wa ISBAT Univasite Pulof Mathew Kattampackal mu lukungaana
Akulira abakozi mu NSSF Owor agamba nti, ebbanga ddene abakulira abakozi babadde tebalowoozebwako ate nga bakola kinene okuyimirizaawo entambula y’emirimu gya kkampuni oba bizinensi ez’enjawulo, neyeebaa ISBAT univasite olwenteekateeka eno.
Agamba nti okusinziira ku misinde ensi kweddukira, abakozi beetaaga okuyambibwa okufuna obukodyo bw’omulembe gwa tekinologiya basobole okusitula bizinensi, ebitongole n’amakampuni gebakolera.
Bamanye ebizibu byebalina ate babifuule emikisa nga babifunira eby’okuddamu ebireetawo ate emikisa gy’okufuna n’okukuza emirimu gya bakama baabwe, kubanga kati weesanga ng’ebizibu by’omwaka guno ate byawukana neby’omwaka oguwedde.

Abamu ku bakulira abakozesa mu lukungaana

Dr Kumar Pradeep dayirekita weby'enjigiriza ku ISBAT Univasite
Dayirekita weby’enjigiriza ku ISBAT univasite Dr Pradeep Kumar agambye nti, wadde abantu bangi kati balaba nga tekinologiya amazeewo emirimu, nti naye ssi bwekiri, abantu beetaaga kukyusa mbeera kubanga enswa bwekyusa amaaso nga naawe okyusa envubo, beetaaga kukyusa mu nkola baasobole okutuukana nebyetaago by’emirimu ebiriwo ensanji zino.
Asabye abakozesa okwongera okutabagana n’abakozi, bamanye byebeetaaga okukola obulungi emirimu gyabwe, kubanga kati ensi eri mu kukyuka, nabo beetaaga okukyusa okutuukana n’omutindo gw’abakozi abeetaagisa.

Vice Chancellor wa ISBAT Univaste Pulof Mathew Kattampackal
Oluvannyuma bano banywedde ka kyakyayi n’okukubaganya ebirowoozo ku bikwatagana ku mirimu, abakozi n’abakozesa, era bangi nebategeeza nti abakozi beebafuna kati ba njawulo nyo ku bwetaavu bw’emirimu gyebakola.
Nebalaajanira ab’amatendekero ga waggulu abafulumya abakozi okubayamba okutendeka abayizi baabwe okusinziira ku byetaago by’abakozesa wabweru gyebagenda okukolera, okusinga okubasomesa obusomesa okufuna zi diguli.

Akulira abakozi mu kitongole kya NSSF ngayogerako eri abakulira abakozi mu lukungaana