Amawulire

"Muddeemu munnyonnyole abantu ku nkola ya PDM"

ABABAKA batadde ku nninga abakungu abavunaanyizibwa ku nkola ya PDM ne minisitule ya gavumenti ez’ebitundu okuvaayo bunnambiro balambulule ku mitendera  abantu abeewola  ssente ezo gye balina okugoberera mu kuzizzaayo.

"Muddeemu munnyonnyole abantu ku nkola ya PDM"
By: Teopista Nakamya, Journalist @New Vision

ABABAKA batadde ku nninga abakungu abavunaanyizibwa ku nkola ya PDM ne minisitule ya gavumenti ez’ebitundu okuvaayo bunnambiro balambulule ku mitendera  abantu abeewola  ssente ezo gye balina okugoberera mu kuzizzaayo.

Bano bategeezezza nti bakizudde nga kireeseewo emiziziko eri abantu abaagala okuganyulwa mu nkola eyo naye nga batya so nga n’oluusi nabo babulwa eky’okubaddamu.

 

Mu nsisinkano ababaka bano  abatuula ku kakiiko  akavunaanyizibwa ku kulondoola ensimbi y’omuwi w’omusolo mu Gavumenti ez’ebitundu gye babaddemu n'abakungu bano.

Kuno kuliko Minisita omubeezi owa gavumenti z’ebitundu Victorious Rusoke  ne Dennis  Galabuzi Ssozi akwanaganya enkola ya PDM mu ggwanga lyonna, okwekennenya enkola eyo w’etuuse mu bitundu by’e Busoga , bategeezezza nti ssinga banafuyira mu kye baatandika, gavumenti eyolekedde akaseera akazibu ak’okufiirizibwa

Okusinziira ku mumyuka wa ssentebe wa kakiiko kano, Christine Apolot (Mukazi Kumi) ekisinze okutabula Bannayuganda kye kiragiro ky’omukulembeze w’eggwanga bwe yasinziira e Kyankwazi gye buvuddeko n’alagira abakungu abaddukanya PDM obutakaka bazzukulu be kuzzaayo ssente ng’emyaka ebiri n’emyezi 36 teginnaggwako.

Yannyonnyodde nti, ekiragiro kino mu ngeri endala kyaleetawo entiisa eri abaali beetegese okutandika okuzzaayo ssente ezo nabo abaali batannaba kuziggyayo nga bagamba nti gavumenti yandiba ng’erina kye babalako.

Wabula Galabuzi mu kwanukula, yagambye nti newankubadde omukulembeze w’eggwanga yalagira bw’atyo, abaazeewola tebasaanye kukuba gudiikudde nga balowooza nti obudde tebulituuka, era n’ategeeza nti ayagala okutandika okuzzaayo ssente ze yeewola okugenda mu maaso

Yagasseeko nti baakusaba omukulembeze w’eggwanga aveeyo addemu atangaaze buto ensonga eyo abantu basobole okugitegeera obulungi olwo basobole okugigatta ku mateeka ge bagoberera mu buwandiike.

Ku nsonga y’e Busoga, ababaka bawuniikiridde okuwulira nti emiruka 787 egikola Busoga  egyalina okuweebwa obuwumbi 78 nga buli gumu gwalina okufuna obukadde 17 nti ate egisinga obungi tegifunanga yadde ekikumi.

Omubaka Racheal Magoola (Mukazi, Bugweri) yaloopedde akakiiko nti ebimu ku biremesezza abantu be okuganyulwa mu PDM be bantu abaakwasibwa obuvunaanyizibwa okutuusa ku bantu ssente nti kubanga be basalawo ku muwendo gwa ssente gwe babawa newankubadde amateeka galagira nti baweebwe kakadde.

Galabuzi yagambye nti ekyalemesa ab’e Busoga okufuna ssente nga bwe zaali zaabasuubizibwa  gye miwaatwa egyazuulibwa amangu nga tebannazifuna.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
PDM
Ssente
Babaka
Palamenti