MMOTOKA ekika kya Canter nnamba UBG 013T, ebadde eva e Busega ng’edda e Nateete esaabadde omuyizi wa Bethel Parents SS e Busega n’emutta.
Afudde ye Phionah Namyalo 17, abadde asoma S3. Bino byabaddewo ku Mmande era Namyalo mmotoka yamusse ayimiridde alinda okusala ekkubo agende ku ssomero.
Abaabaddewo ng’akabenje kagwawo baategeezezza nti mmotoka eno yabadde etisse sirinda za ggaasi n’egezaako okusalinkiiriza akalippagano ng’eyita ebbali w’ekkubo, wabula bwe yatuuse awali omwala n’eremerera ddereeva waayo n’ayingirira abayizi b’essomero lya Bethel abaabadde bayimiridde ku mabbali okusala ekkubo.
Abamu baasobodde okuddukawo wabula Namyalo n’emugwira era yaluddewo ng’alaajana bamuyambe wabula ne balemwa olwa sirinda za ggaasi ezaabadde ku mmotoka nga nzito ddala, era poliisi okuva e Nateete we yatuukidde ng’afudde nga n’abaabadde mu mmotoka eno badduse.
Akulira essomero lya Bethel Parents School, Stephen Katugga, yagambye nti, Namyalo abadde yaakabeegattako ttaamu eno okuva e Mubende gye yali asomera.
Yagambye nti nga essomero bafuba okuyamba abayizi abasala ekkubo, nga bateekawo n’ababayambako, nti naye baddereeva bavuga sipiidi nnene ate abalala bavugisa kimama.
ALESE EKIWANDIIKO EKIKAKALI
Abaggyeewo omulambo gwa Namyalo bwe bakebedde mu nsawo ye basanzeemu ebbaluwa ng’ayogera ku bulamu bwe ng’alinga abadde akimanyiiko nti agenda kufa. Abadde alina ekirooto okubeera omusawo omukugu ng’akolera mu America.
Mu kiwandiiko mubaddemu amannya ge n’aga bazadde be David Ssemyalo ne Robinah Namuleme era nti ye mwana omuwala asembayo mu maamawe, wabula nga mu kitaawe tamanyi kubanga ye akyazaala.
Mu kiwandiiko yalaze nti ekimwennyamiza kwe kuba nti kitaawe tamuwangayo wadde ekinusu okumuyambako mu ngeri yonna, nnyina yekka y’atoba okumulabirira, ne yeebaza nnyina olw’okwewaayo okubalabirira, n’ebirala.
Omulambo poliisi yagututte mu ggwanika e Mulago n’emmotoka n’etwalibwa ku poliisi e Nateete.