Minista Nabakooba Asiimye Abakristu b’e Kkungu olw’enkulaakulana

Minista w’eby’ettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga, Judith Nalule Nabakooba  asiimye Abakristu b’ekigo ky’e Kkungu (mu disitulikiti y’e Kassanda) olw’okukolagana obulungi n’Abasaserdooti baabwe nebasobola okukulaakulanya ekigo kyabwe.

Minisita Nabakooba ng'abuuza ku bannaddiini
By Mathias Mazinga
Journalists @New Vision

Minista w’eby’ettaka, amayumba n’enkulaakulana y’ebibuga, Judith Nalule Nabakooba  asiimye Abakristu b’ekigo ky’e Kkungu (mu disitulikiti y’e Kassanda) olw’okukolagana obulungi n’Abasaserdooti baabwe nebasobola okukulaakulanya ekigo kyabwe.

Yabasabye okuteeka mu nkola ebintu ebirungi eddiini byebayigiriza, basobole okufuula ekitundu kyabwe ekifo ekirungi okubeeramu.

Nga basala Keeki

Nga basala Keeki

Nabakooba yabadde kumukolo ogw’okujaguza emyaka 25 egy’ekigo ky’e Kkungu (ekisangibwa mu disitulikiti y’e Kassanda) ku Lwomukaaga nga June 24, 2023. Ekigo ky’e Kkungu ekiwolerezebwa Omutuukirivu Yoanna Batista,ky’ekimu kubigo ebisinga okuba eby’amaanyi mu ssaza lya Klezia Katolika ery’e Kiyinda-Mityana. Ngakiyita mu kitongole kya Klezia eky’eby’enkulaakulana ekya Caritas, ekigo kino kizimbidde abantu nnayikonto  zisukka mu 50, ekikeendeezezza ennyo obuzibu bw’ebbula ly’amazzi abantu lyebabadde balina. Ekigo era kizimbye amasomero, n’okuuleetera abatuuze ppulogulaamu z’okwekulaakulanya, omuli okulima n’okulunda.

Omukolo gw’atandise n’ekitambiro kya mmisa ey’akulembeddwa Omwepiskoopi w’e Kiyinda-Mityana, Polofeesa Joseph Antony Zziwa ng’ayambibwako Bwanamukulu w’e Kkungu, Faaza Max Ssekiwala n’Abasaserdooti abalala.

Omubaka akiikirira Bukuya County mu Paalament, Dr. Michael Bukenya naye omukolo guno y’agwetabyeeko