Amawulire

Minisitule y'Ebyobulamu etongozza kampeyini y'okutaasa abavubi abafiira ku nnyanja

Minisitule y'Ebyobulamu mu ggwanga Uganda etongozza kampeyini y'okukendeeza omuwendo gw'abantu abafiira mu nnyanja n'okutendeka abantu 25 mu disitulikiti y'e Kalangala ku bukodyo bw'okutaasa abantu, wamu n'okubawa obujjanjabi obusookerwaako. 

Minisitule y'Ebyobulamu etongozza kampeyini y'okutaasa abavubi abafiira ku nnyanja
By: Samuel Nkuba, Journalist @New Vision

Obukodyo buno bubatendekeddwa aba Swim Safe Uganda nga bali wamu ne Emergency Medical Services.

Alipoota eyafulumizibwa aba Makerere University College of Science mu mwaka gwa 2020 eraga nti Kalangala yalina abantu 181 abafiira mu nnyanja kyokka mu kiseera kino omuwendo gw'abafiira mu nnyanja gulinnye. 

Moses Kalanzi akulira Swim Safe Uganda agamba nti baagala okulaba nga omuwendo guno gukendeera naddala okwetoloola ebizinga 84 ebikola Kalangala.

 "Tutandise n'abantu 25 wabula era tulina enteekateka z'okubongerako abalala waakiri buli kizinga kibereeko abantu abasobola okutaasa bannaabwe singa baba bafunye obuzibu ku mazzi," Kalanzi bwe yayongeddeko. 

Abatendekeddwa beeyamye okukozesa obukugu bwe bafunye okulaba nga bataasa n'okuwa obujjanjabi obusookerwako eri abantu abafunye obuzibu naddala abataasiddwa okuva mu nnyanja. 

Enteekateka eno etandikidde mu disitulikiti y'e Kalangala wabula yaakutwalibwa ne mu ndala ezeetooloddwa ennyanja okuli; Buvuma, Buikwe, n'endala.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags: