ABATUUZE ku byalo okuli Kasinina, Maggi, Kasega, ebisangibwa mu ggombolola y’e Kapeke mu disilutukiiti y'e Kiboga be balaajanidde minisita Mayanja abataase ku bagagga abeefudde mukoko okubatulugunya ku bibanja byabwe abamu ne batuuka n’okudduka ku byalo byabwe.
Abatuuze bano balumirizza abaggagga okuli Mugisha Sebba ne Kaweesa Ndawula eyaliko omubaka wa paalamenti ow’e Kiboga West nga tennaba kufuulibwa Kyankwazi.

Minisita Mayanja Ng'ayogerako Eri E Abantu E Kiboga.
Mugerwa Semasitiyani, om uku batuuze annyonnyodde minisita nti kitaawe kati omugenzi Musoke Ssali yagula ekibanja mu 1948 n’afa mu 1998. Yagambye nti mu 2017 yalabira awo nga Mugisha avaayo n’atandika okubaliisa akakanja.
Abatuuze era baalumirizza eyaliko omubaka Ndawula okubatulugunya n’atuuka okusaawa emmere yaabwe n’okubasibisa ng’ayagala bave ku bibanja byabwe nga ettaka okwaliko abatuuze abasoba mu 400 kyokka balyamukka dda.
Ganyana Julius Ngoobe ssentebe w’e ggombolola y’e Kapeke agamba nti ekisengula bantu kisinze kunyigiriza balimi mu kitundu kino.
Ye RDC w’e Kiboga, Mariam Nalubega aloopedde minisita nti Hon. Ndawula Kaweesi tamulabako kaabeere Mugisha Seba yadde abayise enfunda eziwera okumunnyonnyola.
Fiona Balungi amyuka omuwabuzi wa pulezidenti owa guno na guli asoose kwetondera batuuze okusonyiwa pulezidenti Museveni kubanga ye nga omuntu abadde tamanyi kyokka n’alabula poliisi okukomya okumala gasiba abantu ku misango gy’ettaka.
Minisita Mayanja bw’akutte omuzindaalo alagidde poliisi okukwata Ndawula ne Sebba bavunaanibwe era n’alagira abantu okudda ku bibanja byabwe.
Omubaka Ndawulo omu ku be balumiriza agambye nti ettaka lirye era alinako ebiwandiiko.Ye Sebba agambye nti ettaka lino alinako omusenze omu yekka era ensonga ziri mu kkooti.