Minisita alaze emizannyo egisooka mu Nakivubo

Apr 27, 2024

MINISITA w'Ebyemizannyo, Peter Ogwang agambye nti ekisaawe ky'e Nakivubo kukirinze kuzannyirwamu mupiira, basketball, okubaka ne volleyball

Pulezidenti Museveni ng'abikkudde ejjinja mu kutongoza Nakivubo. Wakati ye Ham.

Munamawulire
Munamawulire @Bukedde

MINISITA w'Ebyemizannyo, Peter Ogwang agambye nti ekisaawe ky'e Nakivubo kukirinze kuzannyirwamu mupiira, basketball, okubaka ne volleyball.
Kiddiridde Pulezidenti Museveni okugiggulawo mu butongole ku Lwokuna. Nakivubo yazimbiddwa omugagga Hamis Kiggundu (Ham) era Ogwang yagambye nti emizannyo egyo girinze kuzannyirwamu amangu ddala.
Yagambye nti bagenda kukolagana ne Ham okulaba ng'ekisaawe kino kigasa Bannayuganda bawone ennyonta y'ebbula ly'ebisaawe amangu.

Ham (owookubiri ku kkono) n'abamu ku bazimbye Nakivubo.

Ham (owookubiri ku kkono) n'abamu ku bazimbye Nakivubo.


KIGGULAWO NA MUPIIRA KI;
Gye buvuddeko, omumyuka wa pulezidenti wa Namibia, Netumbo Nandi Ndaitwah yakyalako mu Uganda n'asiima omutindo Nakivubo kwe yazimbirwa. Yasuubiza okuwaayo ttiimu y'eggwanga lye ejje ekiggulewo mu butongole ng'ezannya omupiira ne Uganda Cranes. Wabula Ogwang yagambye nti bagenda kukolaganira wamu ne Ham (nnannyini kisaawe) okulaba nga bategeka omupiira oguggulawo nga gugya mu mutindo gw'ekisaawe kino.
Minisita Ogwang yagambye nti, "Uganda erina omukisa nti Pulezidenti Museveni ye nnamba emu mu kwagala emizannyo era buli mwaka atuwa ebuwumbi 70, bugiddukanye. Noolwekyo guno mukisa munene nti ekisaawe ekiri ku mutindo nga kino tukifunye ku mulembe gwe."
Yabuulidde Pulezidenti obunene bw'ekisaawe kino, "Nakivubo essaawa eno atuuza abantu 20,000 kyokka we kinaggweera ddala, kyakutuuza 35,000,” Ogwang bwe yategeezezza.


PULEZIDENTI MUSEVENI YASIIMYE HAM
Museveni yasiimye 'mutabani we' Ham olw'omulimu omulungi gw'akoze. “Ham yantuukirira mu 2014, n'ansaba azimbe Nakivubo ali ku mulembe ku ssente ze nga Gavumenti ne nzikiriza era mmweebaza okukola omulimu omulungi,” Museveni bwe yagambye.
Yayongeddeko nti, "Nze njagala bisaawe sifaayo oba Ham y'azimbye oba Klezia, Muzikiti oba omuntu omulala yenna ekikulu nti kizimbiddwa mu Uganda nga kiri ku mutendera gw'ensi yonna." Nakivubo asuubirwa okukozesebwa mu AFCON wa 2027. Pulezidenti yasuubizza okwongerako okuzimba ebisaawe ebirala okuli ekya Hoima ne Akii-Bua.
Ye Ham yeebazizza Pulezidenti okumuwa omukisa n'abaako ettoffaali ly'atadde ku ggwanga ng'azimba Nakivubo

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Comments

No Comment


More News

More News

(adsbygoogle = window.adsbygoogle || []).push({});