MINISITA omubeezi avunaanyizibwa ku kanyigo ka Luweero Alice Kaboyo avumiridde abasajja abaganza abakyala ne babazaalamu abaana me babalekerera ne beerwanako bokka okubalabirira
Yasinzidde ku lunaku ly'abakyala ku Emmaus Centre e Butanza mu ggombolola y'e Katikamu mu Luweero RDC Richard Bwabye Ntulume amale ategeeze ng''abazadde abamu bwe batafaayo kutwala baana baabwe ku msomero ne bataayaya ku byalo ne batandika okufuuka ekizibu.
Yagambye nti bategeka kukola kikwekweto kubafuuza bakwate bazadde baabwe bataase omugigi ogwolekedde okufuukira ebitundu n'eggwanga ekizibu.
Minisita Kaboyo yasuubizza okuwa RDC obuwagizi akole ekikwekweto kino kuba abaana abava mu masomero be bafuuka ababbi, abayaaye n'okwenyigira mu bikolobero ebirala.
Yagambye nti gavumenti yassaawo ebifo abaana ababeera bawanduse mu masomero gye balaga okufuna obukugu obw'enjawulo n'asaba okubyettanira abazzukulu abatafiibwako bazadde baabwe baleme kufuuka kitagasa.
NRM MWEWALE ENTALO
Minisita Kaboyo yasabye aba NRM okwewala entalo mu kusunsula abanaabakwatira bendera basobole okweddiza ebifo ebyabatwalibwako aba NUP
"Opposition yayera ebifo ebisinga wano mu Buganda lwa bantu kujja bangi ate abaawangulwa mu kamyufu abamu ne balemeramu. Njagala ku mulundi guno mulowooze ku kibiina kuba kisinga ffe abantu era bendera gwesudde jangu gyendi tusale amagezi okusinga okulwana kifiiriza ne tumaliriza nga tuwanguddwa', Kaboyo bwe yawadde amagezi.
Omubaka w'abavubuka mu Buganda Agnes Kirabo Nantongo yasiimye gavumenti okusoosowaza abakyala n'ebawa enkizo.
Wabula yabasabye obuteewanika ku baami baabwe bakolere wamu okukulaakulanya amaka gaabwe