MINISITA omubeezi ow’Ebyettaka, Sam Mayanja agugumbudde abakulira obukiiko bw’ettakaobwa District Land Commission abakyalemeddwa okuweereza lipooti mu minisitule eziraga engeri gye bakolamu emirimu nga batya okwoleka vvulugu gwe bakola.
Mayanja, yasinzidde ku pulogulaamu ya Mugobansonga ku Bukedde Fa Mma buli lwa Ssande ku ssaawa 1:00 ey’akawungeezi. Yagambye nti obuvunaanyizibwa
bw’okulabirira n’okuddukanya ettaka lya Gavumenti bwaweebwa obukiiko bwa District Land Commission era nga kibakakako okuwa lipooti buli mwaka mu minisitule y’ebyettaka.
Mayanja agamba ekimwewuunyisa ku disitulikiti za Uganda 135, ezaakaweereza lipooti mu minisitule ziri 24 zokka. Ezisigadde zikyagaanyi wadde nga zirina okukikola buli mwaka n’okufulumya byonna bye bakoze mu mawulire.
Ebimu bye balina okulaga mwe muli liizi ze baagaba, ezaakyusibwa ne zifuuka freehold, ba ani abaazifuna, ensaasaanya ya ssente ezaafunibwa n’ebirala. “Olw’okuba obukiiko obusinga butuula mu ntebe ne bulinda liizi eziweddeko oba ezigenda okuggwaako ne bazigabira abantu abalala. Etteeka ligamba nnannyini liizi bw’eggwaako era omukisa gulina kuweebwa abadde nayo, naye bano tebatawaana wadde okumujjukiza nti liizi yo eneetera okuggwaako yeetereeze,” Mayanja bw’agamba.
Yagambye nti bwe kituuka mu Kampala, balya ssente mu bizimbe
birabirirwa ekitongole kya Custodian Board nga byali by’Abayindi, kyokka bannyini byo nga teri amanyiddwa. Ekisaana kwe kusattulula ebitongole by’ekika ekyo,
Gavumenti n’etunda ebyobugagga by’engeri eyo ne biggwa lumu.
Minisita era yagambye nti et-teeka likirambika bulungi nti ettaka eririko abasenze tekugabibwa liizi, kyokka obukiiko bwa disitulikiti bukibuusa amaaso. Abantu abaludde
ku bibanja byabwe balabira awo omuntu ava gy’avudde ng’abagamba;
“Mwaggyawo mutya mwenna muveeko.” Mayanja yagambye nti ekisinga obukulu mu byonna kwe kutya Katonda n’omanya nti buli kintu ku nsi tekiyinza kubeera kikyo wadde obeera okyagala. Olina okubaako ne kye weefiiriza.
Yajulizza Bayibuli mu kitabo kya Daniel (5:16), n’agamba nti olumu Kabaka yatamiira n’atumya ebikopo bya Yekaalu abinyweremu ng’alowooza Katonda tamulaba.
Kyokka olumu yali atamidde n’alaba omukono nga guwandiika, era amangu ago omwenge n’ettamiiro ne bimuggwa n’ayita abagezi babisome bamubuulire kye bitegeeza.
Yali asuubizza anaasoma ebirabo okwali omukuufu gwa zaabu n’ekifo ekyokusatu mu Bwakabaka. Kyokka Daniel bwe yajja ne yeesimba mu maaso ga Kabaka, yamugamba
nti ebirabo byo beera nabyo n’empeera yo giwe omulala nze ng’enda kubisoma awatali
mpeera.
Naye ekizibu ekiri mu nsi, abantu abalinga Daniel abakola ebituufu awatali mpeera bagenda baggwaayo era kitadde eggwanga mu buzibu. Y’ensonga lwaki n’enguzi ekyalemesezza obuweereza okutuuka ku bantu kuba buli omu akulembeza w’afunira.