AKAKIIKO akalwanyisa enguzzi mu maka g’omukulembeze w’e ggwanga kikutte omuyambi wa RDC mu disitulikiti y’e Rukiga Ivan Majambere Kamuntu ku bigambibwa nti yabba ente.
Majembere yakwatiddwa ku Lwokusattu akakiiko ka “State House Anti-Corruption Unit” ne bamugulako emisango okuli okubba ente n’okusalimba.
Omwogezi wa kakiiko kano Mariam Natasha yakakkasiza okukwatibwa kwa Majambere nga basinziira ku kunoonyereza kwe bakoledde awamu n’ekitongole kya poliisi ekya bambega ekinoonyereza ku buzzi bw’emisango ekya (CID) ne kya DPP. Era asuubira okutwalibwa mu kkooti ssaawa yonna.
Majembere agenda kugatibwa ku musajja Amos Mwesigye agambibwa okuba omu ku bantu abazze banyaga ettaka ku bantu mu bitundu bya disitukikiti y’e Gomba eyavunaanibwa nga November /15/2023 mu maaso g’omulamuzi akulira kkooti y’e Masaka.
Mwesigye naye yakwatibwa aba kakiiko kano nga bali wamu n’ekitongole kya poliisi ekya bambega abanoonyereza ku buzzi bw’e misango ne DPP n’avunaanibwa okufuna ssente obukadde 300, mu lukujukuju okuva ku Steven Kagyenyi.
Majembere amanyiddwa nnyo ng’omusajja aterya ntama era ajjukirwa nnyo ku kavvuyo ke yakola mu lumbe lw’omwana w’eyali minisita wa guno na guli Hajji Abdul Nadduli omugenzi Jakana Nadduli ku kyalo Kadunda mu ggombolola y’e Kapeeka mu disitulikiti y’e Nakaseke nga October/24th/2023 okukakkana ng’abamu ku bavubuka ba NUP bamuyisizzamu empi.
Kino kyawaliriza eyali omwogezi wa poliisi mu biseera ebyo Fred Enanga okugamba nti abakoze efujjo ku lumbe lwa Jakana Nadduli bakoze kikyamu kubanga kyali tekyetaagisa era nasubiza nti poliisi yali yakukola ekisoboka okulaba nga bakwatibwa bavunaanibwe mu mbuga za mateeka.
Mu April/2024, Majembere yalondobwa ng’omuyambi wa RDC owa disitulikiti y’e Rukiga wadde ng’abantu bangi baali bamaze ebbanga nga bamwemulugunyako ku bintu ebitali bimu