Amawulire

Maama w'Omulangira Chrispin Jjunju Kiweewa, Amb.Venetia Sebudandi aziikibwa Lwamukaaga e Rwanda

OBUGANDA buli mu kiyongobera olw’okuzaama kwa  Amb.Venetia Sebudandi ng’ono ye nnyina wa Kiweewa wa Buganda, Omulangira Chrispin Jjunju eyavudde mu bulamu bwensi ku lwa Mmande lwa wiiki eno.

Ku kkono ye Omugenzi Amb.Venetia Sebudandi. Ate ku ddyo ye Mulangira Chrispin Jjunju.jpg
By: Bukedde Omusunsuzi, Journalists @NewVision

Bya Dickson Kulumba 

OBUGANDA buli mu kiyongobera olw’okuzaama kwa  Amb.Venetia Sebudandi ng’ono ye nnyina wa Kiweewa wa Buganda, Omulangira Chrispin Jjunju eyavudde mu bulamu bwensi ku lwa Mmande lwa wiiki eno.

Kiweewa yabeera mutabani wa Kabaka omukulu era Kabaka Muwenda Mutebi II ono yamuzaalamu Jjunju mu myaka gye egy’obuvubuka mu makati g’emyaka gya 1980.

Omugenzi yafiiridde mu ggwanga ly’e Switzerland gy'amaze ebbanga ng’ajjanjabirwa era ng’okusinziira ku mawulire Bukedde ge yafunye,obulwadde obwamututte bwamuteeka wansi  okuva mu March omwaka guno.

Embeera ye yagaana okulongooka era kino kyatiisa nnyo Kabaka n’abissaamu engatto n'ayitirako e Switzerland n’amulambulako bwe yali tannadda mu ggwanga nga October 5 ,2023 era wetwagendedde mu kyapa nga getufuna gagamba nti Jjunju yabadde yatuuse dda e Rwanda okwetaba mu nteekateeka z’okuwerekera nnyina.

Agava e Rwanda gyazaalwa galaga nti ogwoto okuva olwa Mmande gukumiddwa mu maka ge agasangibwa ku  street e Kiyovu. Wano era we wagenda okubeera okusaba n’omukolo gw’okujaguza obulamu bwe gwakubaawo ku Lwokutaano November 17,2023 okuva ku ssaawa 12 ez’olweggulo okutuusa essaawa ssatu ez’ekiro.

Sebudandi waakuziikibwa ku Lwomukaaga November 18,2023 ku biggya bya bajjajjabe ku mutala Rusororo wabula  ku ssaawa 4:00 ez’oku makya,omubiri gwakusooka okusabirwa mu kifo ekiyitibwa EAR Remera,Giporoso.

Sebudandi abadde mubaka wa Rwanda mu nsi ez’enjawulo nga yasemba kuweereza ng’omubaka w’e Rwanda e Russia ng’eno yakyusibwa mu November 2019 n’asikizibwa Lt.Gen Frank Mucyo Kamanzi.

Yazaalibwa ku mutala Gahini nga October 29,1954. Yasoma ebitabo nga yafuna dipuloma mu byenjigiriza okuva mu yunivasite e Makerere.

Yakolako emirimu egy’enjawulo wano mu Uganda. Alina diguli eyookubiri okuva mu University of Westminster e Bungereza. Yasoma dipuloma mu by’ennimi okuva mu Yunivasite ye Clermont Ferrand e Bufalansa.

Okuva mu 1996-2001 yaweereza ng’omukungu omukulu avunaanyizibwa ku by’abagenyi mu minisitule y’ensonga z’ebweru e Rwanda.

Mu 2006 yalondebwa ng’Omubaka ow’enkalakkalira mu kibiina ky’amawanga amagatte ekirina ofiisi e Geneva-Switzerland.

Nga tannatwalibwa Switzerland yaweerereza ku kitebe kya Rwanda mu kibuga Paris e Bufalansa okuva 2002 ng’omumyuka w’Omubaka era eyali avunaanyizibwa ku bitongole eby’enjauwlo okuli: UNESCO ne Francophonie.

 Bukedde ayogeddeko n’Omwogezi w’Obwakabaka bwa Buganda, Israel Kazibwe Kitooke n’akakasa amawulire gano era n’akasasa abantu ba Buganda nti mu bbanga erinaddirira baakwongera okulambika Obuganda ku kufiirwa kuno.

Tags:
Amb.Venetia Sebudandi
Jjunju
aziikibwa
Lwamukaaga