Maama Sam ne munne basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa okukuma mu bantu omuliro

Bakansala ba NUP abaakwatibwa ku byekuusa ku kwekalakaasa kw’okulaga obutali bumativu olw’ebyenfuna by’eggwanga basimbiddwa mu kaguli ka kkooti ne basomerwa emisango gy’okukuma omuliiro mu bantu okuwakanya gavumenti eri mu buyinza.

Maama Sam ne munne basimbiddwa mu kkooti ne bavunaanibwa okukuma mu bantu omuliro
By Steven Kiragga
Journalists @New Vision

Bakansala ba NUP abaakwatibwa ku byekuusa ku kwekalakaasa kw’okulaga obutali bumativu olw’ebyenfuna by’eggwanga basimbiddwa mu kaguli ka kkooti ne basomerwa emisango gy’okukuma omuliiro mu bantu okuwakanya gavumenti eri mu buyinza.

Bano kuliko: Angel Kwagala Loodi kansala wa Kawempe South ne Lydia Nakitto be baaleeteddwa mu kkooti e Nabweru ne basomerwa omusango gw’okukuma omuliiro mu bantu. Baagwegaanyi.

Bbakansala Angel Kwagala Kukono Ne Lydia Nakitto(Maama Sam) Nga Basimbiddwa Mu Kaguli Ka Kkooti Y'e Nabweru

Bbakansala Angel Kwagala Kukono Ne Lydia Nakitto(Maama Sam) Nga Basimbiddwa Mu Kaguli Ka Kkooti Y'e Nabweru

Oludda oluwaabi nga lukulembeddwamu Julius Ocheing lwategeezezza kkooti ng’abakwate nga bali ne bannaabwe abakyanoonyezebwa.  Omusango baaguzza nga May 8, 2023 mu bitundu by’e Bwaise mu munisipaali y’e Kawempe.

Bakansala bano bategeezezza kkooti y’omulamuzi Christain Kibuuka nga bwe batalina kye bamanyi mu musango ogubavunaanibwa bwatyo puliida waabwe Gabriel Ochieng n’asaba kkooti ekkirize beeyimirirwe okusobola okufuna obujjanjabi omulamuzi Kibuuka kyakkirizza ku kakalu ka kkooti ka mitwalo 50 ezitali za buliwo n’akakadde kamu eri ababeeyimiridde.

Baddayo mu kkooti nga June 12, 2023.