Maama abadde atwala omulambo gwa bbebi we ku kiggya okuguziika akiguddeko bwe bagumubbyeko ng’ali mu takiisi ayolekera ku kiggya we babadde bagenda okumuziika.

Maama gwe babbyeko omulambo
Kimuli Jumba 40, nga mutuuze ku kyalo Ngalonnyambe ekisangibwa mu diviizoni y’e Gombe mu munisipaali y’e Nansana abadde atwala omulambo gwa muwala we Paulina Namigadde ow’emyezi etaano ku kiggya okumuziika oluvannyuma ly'okumufaako mu ddwaliro e Mulago.
Kimuli agambye kumakya abasawo mu ddwaliro e Mulago baamusiibudde kyokka nga talina ssente zitwala mulambo n’asalawo okugula ensawo agutwalire kyokka bw’alinnye emmotoka, bw’atuuse e Matugga okuvaamu agule airtime agenze okukomawo ng’emmotoka egenze n’agezaako okugigoba n’alemwa okugifuna. Ttakisi gye yalinnye eri Toyota Hiace nnamba UBL 104 Z.

Abakungubazi abaabadde balinze omulambo ku kiggya.
Okusinziira ku Kimuli, omuntu eyabadde amulaba ng’asitudde ensawo abadde alowooza nti mulimu eby’amaguzi ku ngeri gye yabadde efaananamu nga kyandiba nga omuntu eyatutte ensawo eno yalowoozezza nti mulimu ebintu eby’enjawulo nga wano w’asabidde abantu bonna ssinga balaba ku mulambo gw'omwana waabwe bagezeeko okutegeeza ku boobuyinza.
Abooluganda bano nga bakulembeddwa Paul Sekagya Magoba jjajja w'oluggya luno agambye nti kyabeewuunyisizza okubategeeza nti omulambo gw'omwana waabwe bagubbye era kye basinze okulowooza nti kyandiba nga baalowoozezza nti mulimu ebyamaguzi.
Yagambye nti baabadde bakung’aanye nga balinze omubiri gw’omwana waabwe asobole okuziikibwa