BMK bwe yasalawo okumuziika mu limbo e Nkoowe, kigambibwa nti abamu ku bagagga banne tebaasooka kukkaanya naye.
Kyokka oluvannyuma nti yabannyonnyola ensonga ze era abamu ne bawagira ekirowoozo kye.
Ye yagula ettaka okwateekebwa limbo y’Obusiraamu e Nkoowe mu disitulikiti y’e Wakiso era mu limbo eyo mwe yaziika ne nnyina. BMK yaziikiddwa
okuliraana we baaziika nnyina. Sheikh Ahmad Ssentongo, akulira ekibiina kya Uganda
Muslim Welfare Association ekiddukanya limbo y’e Nkoowe eya ‘Salaam Muslim Cemetery’ yagambye nti ekifo kino kyagulibwa BMK n’akiwaayo
baziikemu Abasiraamu.
Kino nti yakikola ng’agoberera enkola y’Omubaka Nabbi Muhammad awamu n’enkola
y’ekigunjufu kuba mu nsi zonna ezaakula, abantu baziikibwa mu
limbo.
Yagambye nti BMK yamanya obukulu bwa limbo nti bwe bakuziikayo ofuna nnyo abakusabira. Olwokuba nga buli kiseera babeera baziikayo, abajja basabira bonna abaaziikibwa mu kifo ekyo.
Yalambuludde nti edda waaliwo endowooza egamba nti abanaku be baziikibwa mu limbo, kyokka endowooza eno BMK yagikyusa era n’abantu
abalala bwe baayongera okusoma Obusiraamu baasalawo gye baba baziikibwa. Sheikh Ssentongo yayongeddeko nti: Abantu abagenda okuziika nabo
banguyirwa kuba ekifo kibeera kimanyiddwa era abajja okuziika tebayinza kubuzaabuzibwa.
Yagambye nti BMK yawa Abasiraamu endagirriro ennyangu n’okuziika kwe
obwedda teri abuuza kkubo.
Ssentongo yagambye nti BMK yalaama naye kennyini bamuziike mu limbo yeemu era
n’abasaba abaddukanya ekifo bwabanga afudde bamuziike okuliraana nnyina Mariam
Nayiga Kibirige, ekintu kye baakoze.
Yagambye nti Omusiraamu yenna akkirizibwa okuziika e Nkoowe era ekyetaagisa
kiri kimu kutwalayo bbaluwa y’omusawo ekakasa nti omuntu yafudde, ebbaluwa ya
LC I eva ku kyalo omugenzi gy’abadde abeera, ebbaluwa ya Imaam gy’abadde asaalira
n’osasula ssente z’abasimi, olwo n’oziikibwa mu limbo.
Sheikh Idris Nsereko yawagidde ekya BMK okuziikibwa mu limbo n’agamba nti enkola eno ya ‘Ssunnah’ era abeera akikoze afuna empeera.
Ekyokubiri osabirwa buli muntu ajja mu limbo obutafaanana nga ku biggya birala.
Sheikh Salim Bbosa akulira Sharia e Kyengera yagambye nti BMK okulaama okuziikibwa mu limbo yagoberera nkola ya mubaka.
Ekyokubiri yayagala afune ku dduwa kuba abafu b’omu limbo basabirwa buli kadde
olwokuba okuziika kubeerawo buli kaseera.
Ekirala omuntu bw’aziikibwa mu limbo abeera awonye abakozi b’ebyekirogo abamanyi
okussa eddagala ku biggya kuba tosobola kwawula kiggya ky’omu ku ky’omulala.
Kyokka Sheikh Zakalia Kyewalyanga ow’e Mityana yagambye nti okuziika mu
limbo kirimu obuwangwa bw’Abawalabu, eddiini y’Obusiraamu gy’esibuka kubanga bbo baziika mu limbo.
Yalambuludde nti, omuntu okumuziika ku kiggya takirabamu buzibu, kasita
bakakasa nti Abasiraamu tebabaziise wamu n’abatali Basiraamu kubanga okubagatta awamu, Nabbi yakigaana.