MUTABANI w'omuyimbi Joseph Mayanja 'Jose Chameleone, bwe yabadde ayasa ebyama ku bulwadde bwa kitaawe, yategeezezza nti alina ennyiike ku mutima okulaba nga kitaawe agaanidde ku mwenge n'ebitamiiza ebirala sso ng'akimanyi bulungi nti abasawo baamuwa emyaka 2 ku 3 okufa singa takyusa nneeyisa ye.
Abba Marcus Mayanja yasinzidde mu America gy'ali ne bato be 4; Amma Christian Mayanja, Alba Shyne Mayanja, Alfa Joseph Mayanja, Ayla Onsea Mayanja ne nnyaabwe Daniella Atim. Eno babaddeyo okuva mu 2019.
Omu ku bali ku lusegere lwa Chameleone eyasabye amannya ge gasirikirwe, yatugambye nti abasawo mu America bwe baamwekebejja yenna okuva ku kagere okutuuka ku mutwe era ne bamutunulamu ne munda, baakiraba
ng'obulamu bwe bugenda buziimeera mpola okufaananako enjuba egolooba ne bamuwa
emyaka 2 ku 3 nga baasinziira ku mbeera akataago gye baakasangamu.
Kaali kagenda kanafuwa olw'ebintu by'akozesa naddala omwenge.
Omusawo mu limu ku malwaliro amanene abadde agoberera embeera ya Chameleone
(amannya gasirikiddwa), yagambye nti Chameloene amaze
emyaka egikunukkiriza mu 30 ng'alina by’akozesa ebimu nga bikakali ate ebirala nga tebitategeerekeka kuba ne mutabani we teyabinnyonnyodde.
Omutabani bwe yabadde ata akaka yagambye nti, alina by’anywa n'agattako
nti n’omwenge anywa mungi ng’ebibiri bye bizibu bye.
Ebyogeddwaako bimanyiddwa mu kutta apetayiti era omuyimbi oyo alya kitono ebiseera ebisinga.
Obudde obulya nabwo alinabutono ng’ebiseera ebisinga tabeera waka abeera mu kuyimba awatali amubudaabuda kumuwa kyakulya kye yandiyagadde oba okumukaka okulya bw’aba tayagadde.
Mukyala we Daniela bwe yali tannagenda mu America yagamba ng’obudde bw’awaka omuyimbi oyo aba na butono ate nga ne bw’aba abufunye, kizibu kutuula n’alya emmere okumukka.
Mu myaka gy’amaze 25 ng’ayimba, y’omu ku bayimbi abasinga amaanyi, obuganzi n’ettuttumu ng’aba ‘bookedkumpi budde bwonna era amaze obudde bungi ku mulimu gw’oyinza okuyita ogwa ddukadduka.
Omwenge gw’azze anywa, yasooka kugunyweranga ku kontulakiti z’amakampuni naddala Nile Breweries mu budde we yabeerera ambasada wa bbiya waabwe nga
bamuwa ne ssente eziwera.
Mu kunywa okutali kubi wabula okusussa, kyamukwata ng’alina okugwa ng’ekigambo bw’okiwulira.
Obudde bwe bwagenda bweyongerayo, yatandika ebika by’omwenge ebirala eby’amaanyi ennyo ebya spirits.
Emyaka nga giigyo emabega olubuto lwatandika okumuluma ne lunyinyitira era Chameleone bwe yakeberwa, kyazuulwa ng’akalulwe ke kalwadde nga by’azze akozesa
ye kanaaluzaala.
Obuvune obukaliko, abasawo baamuwa amagezi nti busobola okukkakkana singa akyusa obulamu kyokka ate abamuli okumpi bagamba nti kizibu kuba obulamu yabumanyiiza bw’atyo. Baagattako nti bw’aba tabukyusizza, ebbanga ly’alina ku nsi ttono. Awo mutabani we, we yagambidde nti, baamuwa emyaka ebiri.
MUTABANI WA CHAMELOENE AYONGEDDE BWINO
Abba ng’amaze okufulumya akatambi ak’eddakiika ettaano ne sikonda 21 ku kitaawe bwe yeereetera ebizibu, yayongedde okuta akaka ku bajjajja be, Prossy ne
Gerald Mayanja.
Mu kusooka yaboogeddeko nga bw’atalabanga bazadde bagayaavu ng'abo nti tebalina buvunaanyizibwa.
Abba yagambye oluvannyuma nti bajjajja be baalaalika nti mutabani waabwe Chameleone bw’alifa, bo bazzukulu baabwe baliyenga enfuufu. Ebigambo ebituufu bye
yakozesezza biri nti, baalaga bazzukulu baabwe bwe batalina kantu taata waabwe bw’aliba afudde, maama waabwe alitunda ennyaanya ku mudaala.
TAATA WA CHAMELEONE BYE YAZZEEMU
Muzeeyi Gerald Mayanja byamuweddeko n’agamba nti muzzukulu we by’ayogera tebiriimu makulu ky’ova olaba n’abantu bangi baabawolerezza bo nga bajjajja kuba omwana akyali muto okutegeera ebintu ebimu ng’ebyo bye yayogeddeko