Kiraabu y’ebikonde eya Lukanga Boxing Club eyongedde okusajjalaatira mu bwa nnantameggwa mu muzannyo gw’ebikonde bwe yeddizza engule ya National Open.
Engule yagyeddizza ku Ssande ku fayinolo y’empaka zino ezimaze wiiki emu nga zibumbujjira mu kisaawe ekibikke ekya Lugogo Indoor Arena.
Pulezidenti wa Uganda Boxing Federation (UBF), Moses Muhangi ye yakwasizza aba Lukanga ebikopo n’abawa ne pukipiki ya Bajaj basobole okufunamu ensimbi ezirabirira abazannyi.
Lukanga yawangudde n’obubonero 132 omugatte okuva mu baawangudde omutendera gwa junior, youth ne elite.
Kapiteeni wa Lukanga Boxing Club, Ronald Nsamba yategeezezza nti baabadde ku biragiro bya mukama waabwe Sam Lukanga eyabatumye ebikopo oluvannyuma lw’okutendekebwa okw’amaanyi okwetegekera empaka zino.
Boxing
“Twabadde tulina okukola ennyo kubanga baatutumye bikopo na buwanguzi,” Nsamba era nga ye yalondeddwa ku buzannyo bw’empaka zino mu basajja bwe yategeezezza.
Ye pulezidenti wa Uganda Boxing Federation (UBF), Moses Muhangi asiimye omutindo gw’abazannyi nti gulinnye okuva lwe baateekawo empaka za Champions League nga z’empaka omulondebwa ttiimu y’eggwanga eya Bombers.
“Empaka zibaddemu okuvuganya kunene kubanga kabadde kasengejja okuzannya mu za Champions League. Edda ng’omuzannyi olutuuka ku fayinolo ya National Open ng’amanya nti atuuse ku ttiimu y’eggwanga naye kati kirala, Muhangi bw’ategeezezza.
Agambye nti singa babadde n’ensimbi okuva mu gavumenti baandibadde batandika okutambuza abazannyi abatali bamu okvuganya mu mpaka za National bamu nga babatwala okuvaugnya mu mawanga amalala okwongera okubangulwa.
“Omutindo gubadde waggulu ddala. Singa tubadde ne ssente abazannyi baffe baandinadde beetaba mu mpaka za National Championships eziri mu mawanga agatali gamu,” Muhangi bwe yategeezezza.
Abazannyi 500 okuva mu kiraabu 52 be bavugannyizza mu mpaka za National Open omwaka guno nga kubaddeko abakazi 72.
Kiraabu 10 ezakulembedde n’obubonero:
Club Junior Youth Elite Total
1. Lukanga 38 49 45 132
2. COBAP 10 09 20 39
2. UPDF 03 05 31 39
4. Kyanja 16 00 11 27
5. Zebra 02 15 05 22
5. Sparks 00 13 09 22
7. Kololo 00 06 15 21
8. Kyengera 07 09 04 20
8. Mutajazi 02 07 11 20
8. Kololo H 02 04 14 20
11. Army 06 00 13 19
12. Gideon 07 03 05 15
12. Sakku 05 00 10 15
12. Boggie 00 04 11 15
15. Busega 09 00 04 15
Abaasinze okukola obulingi:
Abasajja – Ronald Nsamba – Lukanga BC
Abakazi – Michelle Nanyonjo – Lukanga
Ddiifiri eyasinze – Rebecca Namataka – UPDF
Omutendesi eyasinze – Derrick Nyeko – KCCA