Kyagulanyi alambudde amaka g'abagambibwa okubuzibwawo mu Kalulu e Mukono

Ssentebe w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi ssentamu alaze obwenyamivu olw’engeri gavumenti gy’ekandaalirizza okuzza bantu baabwe abagambibwa okuba nga bawambibwa ab’ebyokwerinda mu biseera ebyaali eby’akaasa meeme eby’akalulu mu mwaka gwa 2021.  

Bobi Wine e Mukono
By Joanita Nakatte
Journalists @New Vision

Ssentebe w’ekibiina kya NUP Robert Kyagulanyi ssentamu alaze obwenyamivu olw’engeri gavumenti gy’ekandaalirizza okuzza bantu baabwe abagambibwa okuba nga bawambibwa ab’ebyokwerinda mu biseera ebyaali eby’akaasa meeme eby’akalulu mu mwaka gwa 2021.

Abadde akulembeddwa ababaka ba palamenti ab’ekibiina kino okuli owa Mukono North Abdallah Kiwanuka Mulimamayuuni, Betty Nambooze Bakireke,Hanifa Nabukeera ne Fred Ssibwa basoose okumutwala mu maka ga Anastazia Nabakooza maama wa Yuda Tadeo Ssempijja e Kabembe, n’amuttottolera obugubi bw’azze ayitamu okulabirira n’okukuza abaana ba mutabani we ekyaviirako n’abamu okuwanduka mu masomero.

Ono oluvanyuma ayolekedde e Katoogo mu maka ga Kanatta Mohammed ng’ono naye ne gye buli eno famire ye teddangamu kumukubako kya mulubaale kati emyaka esatu miramba, n’abagumya nga bw’agenda okulwana obwezizingirire n’okwongeramu amaanyi okubanja gavumenti abantu baabwe oba nga balamu oba nga bafu.

Kyagulanyi wano w’asinzidde n’avumirira enkwe ezijudde ba nnakibiina kino ezitandise okweyolekera mu ba nnakibina kino n’ategeeza nga kino ekikolebwa bwe kiri eky’obulabe ennyo era nga kyolekedde okusuula ekibiina mu katyabaga ak’amaanyi gye bugya.

Mu mbeera eyo mbasaba tuddeyo ku nnono yaffe gye twatandikira ey’obumu ng’erimu ku makubo agagenda okututuusa ku buwanguzi n’ekiruubirirwa kyaffe kye tuliko, njagala okugumya aba famire zonna ezirina abaana be bawamba era mbategeeza nga ng’ekibiina tukola kyonna ekisoboka okuzuula abantu ababuzibwaawo.”Kyagulanyi bwe yagambye.

Ye omubaka akiikirira Mukono North Kiwanuka Abdallah Mulimamayuuni akaatirizza nga bwe batagenda kussa Mukono okussa ekitongole ekirwanirira eddembe ly’obuntu ku nninga okuzza abantu baabwe ne famire zaabwe okufuna obwenkanya.

Kyagulanyi aliko ettu lye yeetikidde famire zino okubadde emmere,sukaali ebitabo n’ebintu ebirala bingi nnyo okubayambako mu bulamu bwabwe obwa bulijjo era n’asuubiza ng’ekibiina kino bwe kigenda okulwana okulaba ng’abaana b’abaabuzibwawo basoma