Kitalo ! Oweekitiibwa Joyce Mpanga afudde!!

Mpanga abadde mukyala wa maanyi nnyo mu Buganda ne gavumenti ya wakati, yaliko omubaka omukyala owa disitulikiti y'e Mubende,

Kitalo ! Oweekitiibwa Joyce Mpanga afudde!!
By Vivien Nakitende
Journalists @New Vision
#Amawulire #Joyce Mpanga #Kitalo #Minisita #Lukiiko

Oweekitiibwa Joyce Mpanga abadde omukiise ku lukiiko lwa Buganda afiiridde mu ddwaaliro lya Kampala Hospital amakya ga leero ku Lwomukaaga nga November 18,2023.

Bampanga nga bakyali balamu mu buvubuka bwabwe.

Bampanga nga bakyali balamu mu buvubuka bwabwe.

Nasser Musisi, ddereeva yagambye nti aludde ng'atawaanyizibwa ekirwadde kya puleesa ne sukaali era gye buvuddeko bwamulemaza n’aba nga takyasobola kutambula ku lulwe, era yafunamu okulumizibwa mu kifuba, wabula n'ajjanjabwa n’awona.

“Kumakya g'olwaleero akaabye ekifuba nti kimuluma nnyo era ne tumutwala mu ddwaaliro lya Kampala Hospital ku ssaawa 4:00 ez'oku makya, wabula abasawo babadde baakatandika okumukolako n'assa ogw’enkomerero, Musisi bwe yayongeddeko.

 

Mpanga abadde mukyala wa maanyi nnyo mu Buganda ne gavumenti ya wakati, yaliko omubaka omukyala owa disitulikiti y'e Mubende, y'omu ku baatandikawo ekibiina kya Kabaka Foundation ate era abadde mukiise mu lukiiko lwa Buganda.

Bba, omugenzi Fred Mpanga ye yali ssaabawolereza wa Buganda ku mulembe gwa Ssekabaka Muteesa II eya baagenda naye mu buwang’anguse e Bungereza okutuusa bwe yakisa omukono.

Omugenzi Joyce Mpanga naye yaliko ssaabawolereza wa Buganda, era afudde ali mu mirimu gya Buganda egy'enjawulo. Abadde yeebuuzibwako ku nsonga ez'enjawulo mu Buganda. Omulambo gukyali mu ddwaaliro lya Kampala Hospital.