Katabaazi agguddewo ofiisi mw'akwananyiza ensonga z'abalonzi be

OMUBAKA Francis Katongole Katabaazi agguddewo ofiisi entongole mw'anaasinziiranga okukwanaganyanga ensonga z'abalonzi be mu Kalungu East n'okufuniramu ebirowoozo by'anaabateeserezanga mu Palamenti.

Katabaazi agguddewo ofiisi mw'akwananyiza ensonga z'abalonzi be
By Ssennabulya Baagalayina
Journalists @New Vision
Ofiisi eno agigguddewo mu kabuga k'e Lukaya ng'eno y'eneekwanaganya n'ezam'agombolola okuli Bukulula ne Lwabenge ng'agitaddemu omuwandiisi ow'enkalakkalira Hadijah Nakyeyune.
  
Wabula mu kutuuka ku ofiisi eno,ababaka ba Palamenti Francis Zaake Butebi ow'ekibuga Mityana n'owe Kakuuto Geoffrey Lutaaya bawuniikiridde olw'omukwano gw'abalonzi n'omubaka waabwe Katabaazi.
   
Bwanamukulu w'ekigo ky'e Bukulula Fr Aloysius Kamulegeya ne District Khadh wa Masaka Sheikh Badiru Wasajja Kiruuta be bagisabidde n'okugiwa omukisa nti ensonga z'abalonzi zikolebwangako awatali kulemererwa.
   
Omubaka Katabaazi akkaatiriza ensonga y'obumu n'asaba abatuuze bazze ku bbali enjawukana z'ebyobufuzi,eddiini n'amawanga kuba bino byawukanira ddala n'omulamwa gw'ekiragiro kya Katonda eky'okwagalana.
 
Hon Katabaazi Aguze Mmotoka Yamazzi (88)

Hon Katabaazi Aguze Mmotoka Yamazzi (88)

 
Hon Katabaazi Aguze Mmotoka Yamazzi (83)

Hon Katabaazi Aguze Mmotoka Yamazzi (83)

Hon Katabaazi Aguze Mmotoka Yamazzi (95)

Hon Katabaazi Aguze Mmotoka Yamazzi (95)