OMUYIMBI Catherine Tumusiime amanyikiddwa nga Kapa Cat, ebintu bimutabuseeko asazeewo addukire ewa Katonda oluvannyuma lw’emyaka n’emyaka nga ttalinnya mu sinzizo.
Yagambye nti embeera ebadde ekalubye okutuusa muzirakisa pulodyusa Atin bwe yamuwadde amagezi emigugu egimuzitooweredde agikwase Katonda naye kye yakoze era bw'atyo n'asalawo okuddukira mu kkanisa ya Worship House e Nansana akungaane.
Ku Ssande yalabiseeko mu kkanisa eno era omusumba Bugembe n’abakkiriza ne bamwaniriza mu mizira naye bakira buli amulaba yeewuunya Kapa Cat okulinnya mu kkanisa.
Kapa Cat yagambye nti kituufu omusumba okumwewuunya okuba ng’ali mu kkanisa kubanga ebbanga libadde ddene nga tamanyi kituuti kya kkanisa gye kitunula olw’ensonga yakoma okugenda mu sinzizo nga wa P.7.
Kapa Cat Ng'ayogera
Yannyonnyodde nti embeera ebadde emutabuseeko ng’ebintu takyabitegeera okutuusa Atin bwe yamuwadde amagezi anonyeeyo famire endala ey’ekkanisa n’asaba abantu bamusabire anywerere mu kkanisa.
Ekyasinze okwewuunyisa abakkiriza y’ennyambala gye yabadde ayambadde nga buli omu yeewuunya omwana ono amanyikiddwa ng’engoye ezibikka omubiri gwe zisiiwa Katonda eyamukutteko n’ayambala nga talina wadde ekitundu kye eky’omubiri ekirabika.
Mu ku mubuuza naye yagambye nti kyamuwadde akaseera akazibu okufuna olugoye olugenda mu kkanisa mu ngoye ze era n’akomekkereza ng’agenze mu dduuka okugula engoye empya.