Kannyama eyafiiridde e South Africa aziikiddwa

10th September 2023

Isa Baker Miiro Munnayuganda Kanyama abadde akolera emirimu gye e South Africa aziikiddwa e Kidda mu Masaka wakati mu biwoobe n'okwaziirana okuva mu booluganda.

Nga baziika omugenzi Isa Baker Miiro Byandala mu katono.jpg
NewVision Reporter
@NewVision
#Kannyama #South Africa #aziikiddwa #eyafiiridde
101 views

Bya Meddie Musisi

Isa Baker Miiro Byandala,  Munnayuganda Kanyama abadde akolera emirimu gye e South Africa aziikiddwa e Kidda mu Masaka wakati mu biwoobe n'okwaziirana okuva mu booluganda.

Miiro Byandala yafiiridde mu ddwaaliro mu kitundu ekiyitibwa Timbisa gye yaddusiddwa oluvannyuma lw'okugwiirwa ekirwadde eky'amangu.

Omu ku mikwano gy'omugenzi, Sheikh Ali Ssekamatte era nga ye Ssentebe wa Bannayunda abawangaalira mu kitundu kino, yagambye Byandala abadde atutte akabanga ka wiiki bbiri ng'atawaanyizibwa mu kussa.

Ssekamatte yagambye nti abasawo abaasoose okukebera Byandala baazudde nga yali yakwatibwa ekirwadde kya 'nimoniya'.

Ssekamatte yagambye nti Bannayunda b'akulembera mu kitundu Byandala wabadde awangaalira ssaako n'abo abali mu bitundu be  basonze ensimbi ezaakomezawo omulambo gwe n'asobola okuziikibwa ku biggya bya bajjajjabe e Kidda mu Masaka. 

Haji Harouna Mutebi, muganda w'omugenzi yasiimye Bannayuganda abali e South Africa olw'omulimu gwe bakoze okuzza kuno omulambo gwa muganda we.

Yaziikiddwa ku kijja kya Bajjajja be mu maka g'omugenzi Hajji Hassan Byandala.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.