Amawulire

Kagwensonyi ow'emyaka 52 eyasobezza ku bbujje eritanneetuuka akwatiddwa

Omusajja ow'emyaka 52 akwatiddwa poliisi e Kasese ku bigambibwa nti yasobezza ku mwana ow'emyaka 1

Kagwensonyi ow'emyaka 52 eyasobezza ku bbujje eritanneetuuka akwatiddwa
By: Godfrey Kigobero, Journalist @New Vision

Omusajja ow'emyaka 52 akwatiddwa poliisi e Kasese ku bigambibwa nti yasobezza ku mwana ow'emyaka 10.

 

Ismael Bamuturaki omutuuze wa Top Hill Ward e Katwe Kabatooro e Kasese, y’akuumirwa ku poliisi ku musango gw'ebigambibwa nti yajjudde ebitannaggya.

 

Kigambibwa nti omwana ono babadde babeera naye awaka era ng'omukyala w'awaka amuyita Ssenga.

 

Kitegeezeddwa nti ssenga yamulese awaka ne Ismael n'agenda e Mubende nti wano we yamusoberezzaako nti kyokka n'anyumiza banne bwe basoma ku ssomera nabo abaatemezza ku akulira essomero. ensonga ne bazikwasa poliisi emukutte.

 

Omwogezi wa poliisi mu Rwenzori East, Elly Maate, agambye nti omwana bamukebedde era fayiro ewedde okukolebwa.

Help us improve! We're always striving to create great content. Share your thoughts on this article and rate it below.

Tags:
Misango
Musajja
Kibi
Kitalo